Amawulire

Abalamazi okuva e Mbarara, Isingiro ne Kabale bateereddwawo olutindo  ku Katonga.

EKIBINJA ky’abalamazi abasoba mu 200  okuva mu bitundu by’e Mbarara, Isingiro, Kabale n’awalala balaze essanyu nga bayita ku lutindo lw’ekiseera lwe bateereddewo abeebigere ku mugga Katonga okubasobozesa okumalako olugendo lw’okulamaga e Namugongo lwe baliko.

Fr. Peter Alinitwe okuva mu Kigo kya Birinduma e Isingiro omu ku bakulembedde abalamazi bano ategeezezza nti abamu embeera ya bannaabwe abasaoose okukonkomalira mu kifo kino okumala ennaku nga babuliddwa ew’okuyita okweyongerayo, yabawadde amaanyi okwongera okusaba Katonda  asobozese bekikwatako okubateerawo olutindo olw’amangu.

Olumaze okusala olutindo luno olw’emiti n’ebyuma ebigumu balaze essanyu wakati mu nduulu n’ennyimba ezitendereza Katonda, n’abamu bwe basiima Gavumenti ekoze ekisoboka okumalawo obweraliikirivu bwabwe.

Abakulembeze b’ekitundu kino okuli; Ssaalongo Isaya Kimbugwe owa Kayabwe Town Council ne Francis Bbuye ow’eggombolola y’e  Nkozi mu Mpigi nabo basangiddwa mu kifo kino nga bayamba ku baserikale mu kulungamya abalamazi bano okuyita ku lutindo mu ngeri y’obwegendereza.

Bano balaze essuubi nti olutindo luno oluteereddwawo kabonero kakulu nnyo eri abatuuze nti obudde bwonna entambula egenda kulongooka ku luguudo lw’e Masaka nti emirimu mu kitundu egisanyaladde gidde engulu.

Bategeezezza nti abakozi ba Kkampuni ya China Community Construction Company mu kiseera kino nabo bali mu kukola butaweera okuzzaawo olutindo olunene n’abebidduka bakkirizibwe okuyita mu kifo kino mu bbanga ttono okuva kati.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top