Ebyobufuzi

Abanene abazze bafa mu nfa ya Maj. Gen. Paul Lokech

Abanene abazze bafa mu nfa ya Maj. Gen. Paul Lokech

Okufa ky’ekintu eky’obwenkanya Katonda kye yatutegekera nga buli muntu alina okukigabanako ekiseera kyonna.

Bannayuganda bangi abagundiivu omuli Bannaddiini, Bannabyabufuzi, ne bannamagye abazze bafa mungeri ey’ekikangabwa, ekivaako n’abamu okulekawo ebibuuzo eby’amaanyi ku nfa yaabwe omuli n’okugibuusabuusa.

SSEKANOLYA aleengerera ewala olwaleero akuleetedde abamu ku banene abazze bafa, kyokka oluvannyuma lw’abasawo okunoonyereza ne bazuula nti okufa kuba kuvudde ku musaayi kwekwata.

Maj. Gen. Paul Lokech

Olwomukaaga lwa wiiki ewedde abadde omumyuka wa ssaabapoliisi wa Uganda Maj. Gen. Paul Lokech yafiiridde mu maka ge agasangibwa mu municipaali y’e Kira. Omuduumizi wa poliisi Martin Okoth Ochola yalagidde abasawo okuli owa poliisi Dr. Moses Byaruhanga, Maj. Gen. Steven Kasasira ono nga y’akulira eby’obulamu mu UPDF ne Dr. Ben Kinge abadde omusawo wa Lokech ow’ekyama nga bayambibwako abasawo okuva mu ddwaliro e Mulago babawe omulambo okusobola okugwekebejja n’okuzuula ekituufu ekyamusse. Lipoota y’abasawo yakakasizza nti Lokech yafudde okwetukuta kw’omusaayi.

Ssaabasumba Dr.Cyprian Kizito Lwanga

Ono ye yali Ssaabasumba w’essaza ekkulu ery’e Kampala. Ono yasangibwa ng’afiiridde mu maka ge e Lubaga nga 3/4/2021 oluvannyuma lw’okutambuza ekkubo ly’omusalaba. Akulira eby’obulamu mu Kampala Archdiocese Dr. Ssekitooleko yategeeza abakungubazi nga bwe beekebejja omulambo gwa Ssaabasumba Lwanga nga bayambibwako abasawo abakugu okuva mu ddwaliro e Mulago ne bakizuula ng’okufa kwa Ssaabasumba bwe kwali kuvudde ku musaayi okwesiba, oluvannyuma lw’emisuwa egitwala omusaayi ku mutima okwesiba.

Gen. Aronda Nyakairima

Mu September nga 9 2015, eyaliko minista w’ebyomunda mu gwanga era eyaliko omuduumizi w’amagye ga Uganda People’s Defense Forces Gen. Aronda Nyakairima yasangibwa ng’afiiridde ku nnyonnyi bwe yali ava e South Korea ng’adda e Uganda okuva ku mirimu emitongole. Alipoota y’abasawo yalaga nti emisuwa egitwala omusaayi ku mutima gy’aliko akasaayi akaali keseibye.

Medi Kaggwa

Ono ye yali sentebe wa Uganda Human Rights Commission. Kaggwa yafiira ku stellingi mu mmotoka ye bwe yali yeevuga ng’ava mu maka ge agasangibwa e Mulago. Yaddusibwa mu ddwaliro lya Case Clinic gye baakakasizza nti yali afudde. Abasawo baategeeza nti omutima gwekanga ne gwesiba omulundi gumu n’afa.

Eriya Kategaya

Ono yaliko ssaabinista wa Uganda era yali nnyo ku lusegere lwa pulezidenti Museveni kuba yali namba bbiri mu kibiina Kya NRM. Yafiira mu ddwaliro e Nairobi mu March wa 2013. Kategaya yali ofiisa mu magye ga NRA kati agaafuuka Uganda People’s Defense Forces. Abasawo baategeeza nga bwe yali afudde oluvannyuma lw’akatole k’omusaayi okwekwata.

Maj. Gen. Samuel Kasirye Ggwanga

Ono yali musirikale atasaagirwako era atalina mukwano ku muntu yenna okuggyako embwa ze, ku nsonga ezimu ky’asazeewo nga tewali musirikale akiwakanya. Ggwanga yabonerezanga era n’avumiriranga nnyo abo abaatuusanga ennyo obulabe ku muntu wabulijjo. Gen. Kasirye yafa mu mwaka gwa 2020 oluvannyuma lw’okufuna obujanjabi mu ddwaliro ly’amagye e Bombo gye baatutegereza nga bwe yalina akasaayi akaali keesibye ku bwongo akaamuviirako okufa.

Dr. Stephen Mallinga

Ono yaliko minisita w’ebyobulamu. Yafa nga 11/04/2013 mu maka ge agasangibwa e Butebo mu disitulikiti y’e Palisa. Ono okufa yamala kulya kyaggulo n’abamu kubeŋŋanda ze, okufa kwe kwali kwa kibwatukira kuba teyalina kintu kyonna kyali kimuluma.

Dr. Anas Kaliisa

Ono yali musomesa w’obusiraamu, yafa mungeri ey’ekibwatukira nga 5/11/2020. Ono okufa yali yaakava mu ofiisi ng’adda okuwummula nga bwe yali enkola ye, nga wayise akaseera katono.

Maj. Gen. Julius Oketta

Ono ye yali amyuka Gen. Salim Saleh nga ssentebe owa Operation Wealth Creation. Yafa mu November wa 2016 mungeri ey’amatankane. Okufa kwa Oketta kwali kwa kibwatukira nabuli kati tewali amanyi kituufu kyamutta.

Bwe yatwalibwa mu ddwaliro, abasawo baagamba nti okwekutula kw’omusaayi bwe kuzaala obutole oba akatole akalemesa omusaayi okutambula okutwala empewo ey’obulamu mu bifo by’omubiri eby’omugaso naddala mumutina n’ebitundu ebirara.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top
// Infinite Scroll $('.infinite-content').infinitescroll({ navSelector: ".nav-links", nextSelector: ".nav-links a:first", itemSelector: ".infinite-post", loading: { msgText: "Loading more posts...", finishedMsg: "Sorry, no more posts" }, errorCallback: function(){ $(".inf-more-but").css("display", "none") } }); $(window).unbind('.infscr'); $(".inf-more-but").click(function(){ $('.infinite-content').infinitescroll('retrieve'); return false; }); if ($('.nav-links a').length) { $('.inf-more-but').css('display','inline-block'); } else { $('.inf-more-but').css('display','none'); } // The slider being synced must be initialized first $('.post-gallery-bot').flexslider({ animation: "slide", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, itemWidth: 80, itemMargin: 10, asNavFor: '.post-gallery-top' }); $('.post-gallery-top').flexslider({ animation: "fade", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, prevText: "<", nextText: ">", sync: ".post-gallery-bot" }); });