Amawulire

Abasawo batiisizatiisiza okwekalakaasa .

Abasawo abali mukugezesebwa mu by’eddagala, bannansi awamu n’abazaalisa bawadde gavumenti nsalesale wa nnaku 72 okusalira ebizibu byabwe amagezi oba sikyo bakuwummuza ebikola.

Bano baagala Minisitule y’ebyobulamu okuteeka mu nkola ekiragiro kya Pulezidenti kyeyawa nga alagira bano baweebwe ensimbi obukadde 2.5 buli mwezi.

Nga bayita mu kiwandiiko akulira ekibiina ekitaba abasawo bano ki Federation of Uganda Medical Intern (FUMI), Dr. Musa Lumumba agamba nti tebafunanga ssente za mwezi gwa  September ne October, wadde aba Minisitule y’ebyensimbi babategeeza nti ensimbi baaziweereza.

“Tuli mu mbeera nzibu, ssente ezo zezituyamba okufuna ebintu nga emmere, wetusula awamu n’okwambala naye kati tetulina wadde ekikumi,”  Dr Lumumba bwe yagambye.

Lumumba yagasseeko nti embeera eno tebasobozesa kutambuza bulungi mirimu gyabwe n’obukugu nga bwekiteekeddwa okubeera.

Kinajjukirwa nti nga June 1, 2021 Pulezidenti Museveni yasisinkana aba Uganda Medical Association ne Elders Forum nalaga okunyolwa ku mbeera y’abasawo abali mukugezesebwa mwebawangaalira.

Museveni wano yalagira bano baweebwe ekitundu ky’ensimbi eziweebwa abasawo ababeera bamaze okukakasibwa okusobola okutumbula embeera zabwe.

Lumumba agamba nti bakulu babwe abakakasibwa ku mirimu bafuna okuva ku bukadde 5.4 okutuuka ku bukadde 4.8 okusinzira ku mirimu egy’enjawulo egy’ekisawo.

Okusinziira ku Lumumba kino kitegeeza nti abagezesebwa balina kufuna makati naye kinyiza okulaba nti waliwo abafuna akakadde kamu n’ekitundu nga kuno kuliko n’omusolo gwa bitundu 30 ku buli 100 nebasigaza kumpi akakadde kamu akatasobola kubatambuza.

 

 

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top