Amawulire

Abatuuze basse abateeberezebwa okuba ababbi b’ente.

Abatuuze  be Kakwanzi mu muluka gwe Kitti mu gombolola Bukulula mu district ye Kalungu bavudde mu mbeera, basse ateeberezebwa okuba omubbi w’ente, omulala asigaddeko kikuba mukono.

Emmotoka ya Fuso No.UBM 099 G gyebabaddemu bagiteekedde omuliro n’ebengeya.

Abatuuze bagamba nti emmotoka eno yalabiddwako eggulo limu nga yetala mu kitundu, okutuusa ssaawa mwenda ez’ekiro bwebaabuuzizza abagirimu kyebagala mu kitundu nga tebanyega.

Bwebaayongedde okubabuuza ennyo nebasalawo okubukamu badduke, kwekubasimbako nebabakwata dereeva nebamukuba nebamutta, ate conductor Nsimbe Ibra asigadde mu mbeera mbi.

Abatuuze bekokkodde obubbi bw’ebisolo obusukkiridde mu kitundu naddala ente, ng’ezimu batwala namba ate endala bazibaagira mu biraalo nebakuliita n’ennyama.

Ssentebe w’ekitundu Kabugo Ibra agambye nti police y’e Lukaya agikubidde n’etwala alumiziddwa mu ddwaliro e Masaka n’omulambo negutwalibwa mu ggwanika.

Wabula kitegerekese nti ne Nsimbe Ibra afiiridde mu kkubo ng’atwalibwa mu ddwaliro.

Bombi bano kigambibwa nti bavudde mu district ye Gomba.

Omwogezi wa police mu bitundu bye Buddu Kasirye Twaha agambye nti bakyanoonyereza ku nsonga eno.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top