Amawulire

Minisita Nandutu ayimbuddwa.

Omulamuzi Jane Okuo Kajuga bwe yabadde ayimbula Nandutu yamugambye ateeke paasipooti ye mu kkooti era tafuluma eggwanga nga tafunye lukusa lwa kkooti.

Omulamuzi era yamulagidde okusasula obukadde 10 mu buliwo ate abamweyimirdde abataddeko akakalu ka bukadde 50 buli omu ezitali za buliwo.

Omulamuzi yakkirizza nti ddala Nandutu okusinziira ku bbaluwa y’omusawo wa poliisi eyamukebera ku poliisi ya Kira Road ntuufu kubanga oludda oluwaabi teruleeseeyo bbaluwa ndala yonna ewakana eno ng’ate n’eyagikola mukungu era akolera kitongole kya gavumenti.

Yayongeddeko nti tayinza kubuusa maaso ffamire Nandutu gy’alina okulabirira okuli n’abaana be abeteaaga obuyambi bwe ng’ate oludda oluwaabi terwaleese na bujulizi bulaga nti Nandutu yayitibwa ku poliisi n’agaana okweyanjula nga bwe bagamba.

Nandutu yasindikibwa mu kkomera nga April 19,2023 oluvanyuma lw’okusindikibwa mu kkooti enkulu yeba ewulira omusango gwe ngavunaanibwa okubuzaawo abamaati 2000 agaali agokuweebwa abantu be Karamoja.

Bannamateeka be nga bakulembeddwa Charles Nandaah Wamukota beebawolereza Nandutu.

Kkooti era yakkirizza nti Nandutu alina amaka ag’enkalakkalira e Nantabulirirwa mu distukiti y’e Mukono, olwo ne bamulagira ateeke mu kkooti ebyapa bya maka ge ssaako ekya ffaamu ye kubanga byazuuliddwa nti bibye ng’ate kyetaagisa okumussaako obukwakkulizo obukakali.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top