Ebyobusubuzi

Abavubi bagala obuyinza bwa minisita bukendezebwe

Abavubi bagala obuyinza bwa minisita bukendezebwe

NGA gavumenti eteekateeka okuleeta ebbago epya ku bye nvuba n’enyanja, abavubi n’abakolera ku myalo egyenjawulo  bagala gavumenti mu bbago lino eyongere amannyi mu bakulira eby’envuba bayite ba fisheries officers wamu  n’okukendeeza ku buyinza bwa minisita bwe bagamba nti busukiridde mukugalawo naddala ku by’okugaba license .

  Abavubi okuva ku myalo kunyanja Nalubaale okuli kiyindi, Ssenyi, Nkombwe, Katos, kisiitu n’emirala bagala obuyinza obwe yagagla okuwa minisitaokusalangawo omundo gwa license ezinagabwa nga omwaka n’ebirala bukendezebweko nabo basobole okweyagalira mumulimu gwabwe.

 Bano bagamba nti gavementi  amanyi yandibadde egateeka ku kubagwiira abanyarwanda abononye enyanja nga belimbika mukuvuba mukene atebavbiramu obwenyanja obuto.

Abavubi basinziide mu lukiiko kumwaalo eKiyindi olw’ayitiddwa omubaka wa Buikwe South Dr Micheal lulume Bayiga okufuna endowooza zabwe ku bbago epya era nebasaba gavumenti ekendeeze ku buyinza bweyagala okuwa minista nti kubanga kandiba akakodyo kokubagoba kunyanja.

Abavubi banno  abalumiriza amagye agawebwa omulimu gwokulwanyisa envuba embi okwenyigira mumulimu gwokuvuba era bagamba nti benyini bebasaale mukuvuba  obubi era wano webasabide omulimu gwokulwanyisa envuba embi okugudiza ekitongole kya FISHERIES kubanga kyo kilimu abakugu abategera omulimu guno.

Bano bongerako nti amagye gabadde mukuwa obukumi abagwira nadala abanyarwanda abavuba Mukene  nebavubiramu obuwuta obuto ate nebadda mukulugunya banansi abagwira nebaleka nga bayinayina.

Ssentebe wa abavubi ku mwaalo gwe ekisitu mu disitulikiti  y’eMukono Matiya agamba nti abanyarwanda bebasinga okuvuba obuwuuta obutonga belimbika mukuvuba mukene ate nga tebagambibwako kyoka nebatulugunya banansi. Ono ayongerako  nti obutono bwe eryato si ye envuba embi wabula muntu lya kola evuba nolwekyo amague ogobaganya obwato nebaleka amato ga abanyarwanda  nga gavubabubi tekirina kyekiyamba bwatyo nasaba mabo bakwatibwe kyenkanyi.

 Ssenkungu Freddie nga muvubi ku mwalo gwe Nkombwe ategezeza nti ekiseera kituuse gavumenti etandiike okwekenenya ennyo ba investors abasukiridde okusenga ku mazzi ekintu kyagamba nti kyakuvirako ebyenyanja byaffe binansangwa okusaanawo sso nga ate bya ttunzi nyo mu nsi yonna.

    Ssemwogerere Yusufu nga ye sentebe wa BMU Ku mwalo gwe Ssenyi asabye gavumenti okutereeza etteeka lino eddize ba fisheries officers obuyiinza ku nyanja wamu n’okuwa District obuyinza okuloonda nga obukiiko bwa BMU kubanga bungi bulemedwa okukola obulungi olw’okutya okukyayibwa abo ababawa akalulu.

  Wabula ye Omubaka Dr lulume Bayigga asinzidde wanno n’ategeeza nti kikulu nnyo gavumenti nga tenaba kuleeta tteeka lino okwebuuza ku bavubi okwetoloola enyanja yonna kubanga bebasinga okulumirwa n’okumanya ebifa mu nyanja.

Mungeri yemu Lulume asabye abavubi okwekolamu ebibiina emyenjawulo mwebegatira kibasobozese okufuna obuyambi ne nsimbi ezentandikwa kyoka alaze obwenyamivu olwabo abawebwa ensimbi  ate nebazirya nga tebazikozeseza kyezirina kukola ekibavirideko okuda emabeega nokukaba obwavu olutatade.

Gavumenti  yaleeta ebaggo lye eteeka epya kunvuba embi mu paramenti nga oyo yena anakwatibwa nga akozesa envuba wakusibwa emyaka 7 oba okusasula engasi ya milion 200.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top