Amawulire

Abavubi balaajana nti ababba ebyennyanja mu nnyanja beyongedde

Abavubi balaajana nti ababba ebyennyanja mu nnyanja beyongedde

Abavubi ku mwalo gwe Kacungwa ogusangibwa mu ggombolola ye Mazinga mu disitulikiti ye Kalangala balaajjana olw’ababbi b’ebyenyanjja abolekedde okubalemesa omulimu gwabwe.

Bagamba nti mu bbanga lya wiiki emu, waliwo amaato agasukka mu mukaaga agabbiddwako ebyennyanja.

Abavubi balumiriza nti abantu abababbako ebyenyanja byabwe babeera benaanise ebyambalo ebyefananyirizaako eby’amagye, wabula nga tebategerekeka gyebava.

Okusinziira ku sentebe w’eggombolola ye Mazinga Gerald Sande Keita, abanyazi bano bajjira mu maato agatategerekeka bigakwatako, nga n’agamu tegabeerako bulambe bwonna.

Micheal Kakonge avubira ku mwalo gwe Kacungwa agamba nti obubi bwakubalemesa omulimu gwabwe kuba bajja kuba tebakyasobola kusasula misolo gya government.

Amagye agalwanyisa envuba embi galangiridde nti gagenda kutandika okulawuna ennyanja naddala mu ggombolola eno eye Mazinga, okufuuza ababbi abanyaga ebyennyanja by’abavubi.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top