Amawulire

Abayizi abasukka 90 bataawa lwa kulya butwa.

Abayizi abasukka 90 aba pulayimale baddusiddwa mu ddwaaliro nga bali mu mbeera mbi, oluvanyuma lw’okulya eby’okulya ebigambibwa nti mulimu enjaga mu ggwanga lya South Africa.

Embeera eno yabadde mu katawuni k’e Soshanguve mu ssaza lye Pretoria.

Kigambibwa abaana okutandika okulumwa olubuto, okusesema n’okulumwa omutwe, y’emu ku nsonga lwaki batwaliddwa mu ddwaaliro nga bali maziga.

Akulira eby’enjigiriza mu ssaza lye Gauteng Matome Chiloane, agumizza abazadde nga Poliisi bw’egenda okunoonyereza okuzuula ekituufu.

Mungeri y’emu Matome awanjagidde abaana okwekeneenya ebintu eby’okulya ebigulibwa n’okusingira ddala eri abantu ababitambuza.

Abayizi bali wakati w’emyaka 6 ne 14 era okunoonyereza kulaga nti nga bagenda ku ssomero, waliwo byebaguze mu kkubo omuli ppaani omuli enjaga.

Abasomesa bagamba nti abaana okutandiika okukaaba nga bali mu kibiina, y’emu ku nsonga lwaki baakubidde abasawo okuyambibwa.

Mu kiseera kino, Poliisi etandiise okunoonya omutembeyi eyaguzizza abaana eby’okulya.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top