Amawulire

Abazannyi be’binayuganda basiimiddwa olw’okutumbula ebitone.

Bino byayogeddwa Rinaldi Jamugisa omwogezi wa Multichoice Uganda ku mukolo ogw’okujaguza emyaka ebiri egy’omukutu gwa Pearl Magic Prime ku kitebe kya Multi Choice Uganda e Kololo.

Jamugisa yagambye nti mu myaka gino ebiri omukutu guno gye gumaze omutindo n’obuwagizi bwa firimu za Bannayuganda gweyongedde nnyo saako okuzuula ebitone ebipya.

Ono yanokoddeyo abazannyi nga Nabwiso abali emabega wa pulogulamu ya Sanyu olwamanyi ge baateekamu naddala mu kiseera ky’omuggalo gwa Covid-19 mu kiseera omukutu guno we gwaggulibwawo.

Lois Kwikiriza akulira bakitunzi ba Multichoice yagambye nti olw’omutindo gw’ebiyiiye bya bannakatemba abavujjirizi beeyongedde obungi era wano we yasinzidde n’akubiriza Bannakatemba okwongerea amaanyi mu kuyiiya emizannyo egikwata obutereevu ku bulamu bw’abantu aba bulijjo n’embeera ze bayitamu.

Emizannyo emirala egiragibwa ku mukutu guno kuliko; Kojja, Salvador Show, Gamyuse, Zizzu, Urban Life, Juniors Drama Club, KanSeeMe ne Take Me Back.

Omukolo gwetabiddwako bannakatemba n’abayimbi abaakulembeddwamu John Ssegawa era nga beeyamye okwongera okuwa Bannayuganda emizannyo egizimba.

 

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top