Amawulire

Aba Jinja City Council bawagidde kaweefube w’okukuuma obutonde.

Bategeezezza nti era baakuwagira pulogulaamu eziruubirirwa okukuuma obutonde ku lubalama lw’omugga Kiyira ezigenda okutandikibwawo ekitongole kya Umoja Conservation Trust mu Jinja.

 

Bino abakulembezze babituuseeko bwe babadde mu lukiiko lwa Jinja City Council olwatudde mu Council Chambers ku kitebe kya Jinja City. Olukiiko lwakubiriziddwa Sipiika, Bernard Mbayo era lwetabiddwamu omumyuka wa Meeya wa Jinja City Fazira Kawuma.

Bwe yabadde ayogera eri abakiise, Sipiika Bernard Mbayo yategeezezza nti olukiiko lujja kukolagana n’aba Umoja Conservation Trust okukuuma obutonde n’asaba aba Umoja okukolayo Memorandum of Understanding bagisseeko omukono nga bamaze okufuna okuwabulwa okuva ewa Solicitor General.

Mbayo yategeezeza aba Umoja nti olukiiko lwa Jinja City Council lukolagana n’ObwaKyabazinga bwa Busoga mu bintu bingi n’asaba aba Umoja nabo okukolagana n’okutegeezaako ObwaKyabazinga ku nsonga gye baliko.  

Omukiise akiikirira Jinja East ku lukiiko lwa Jinja City, Richard Mbaziira, yagambye nti awagira aba Umoja era nti kkampeyini eno bwe banaabeera nga bagifunzizza omuli n’okutumbula eby’obulambuzi ku mugga Kiyira egya kwongera ku omusolo oguyingizibwa olukiiko lwa Jinja City Council.

Mbaziira yawadde eky’okulabirako nti buli mwaka aba National Farmers Federation (UNFFE) bategeka omwoleso gw’eby’obulimi ku nsibuko y’omugga Kiyira mu Jinja naye olukiiko terufunanga ku ssente yonna naye aba Umoja bwe banabeera batandiseewo ebikujjuko ebya Nile Cultural Festival ne Nile Conservation Conference mu April omwaka guno, kijja kuyamba olukiiko lwa Jinja City okufuna omusolo oguwerako.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top