Amawulire

Agambibwa okubba kkiro 15 ez’ennyama y’embizzi asindikiddwa

Omusuubuzi w’ennyama agambibwa okulyazaamanya munne gwe bakola omulimu gumu kkiro z’ennyama y’embizzi 15 ng’amusuubizza okumuwa emitwalo 18 avunaaniddwa gwa bubbi, kkooti emusindise ku limanda e Luzira okutuusa nga February 7, 2023 atandike okwewozaako.

Brian Mugisha 23, akola gwa kutunda nnyama mu lufula ya Wambizzi Co-operative Society e Nalukolongo mu Lubaga y’asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi, Amon Mugezi mu kkooti ya Nateete Rubaga e Mengo n’asomerwa omusango gw’okufuna ebintu mu lukujjukujju.

Kigambibwa nti nga January 7, 2023 e Nalukolongo, Mugisha yafuna kkiro 15 z’ennyama y’embizzi okuva eri Alex Kisuule ng’amutegeezezza nti yali agenda ku muwa emitwalo 18 ekitaakolebwa.

Mugisha yeewozezaako nti ssente yazimuwa n’azigaana nti obudde bwali buyise ky’ava amutwala ku poliisi.

Ono era avunaaniddwa n’ogw’okumenya ennyumba ya Alex Mutesaasira e Mutundwe n’abbamu emitwalo 20.

Gyonna agyegaanyi wabula olw’okuba tabadde na bamweyimirira, kkooti emusindise ku limanda e Luzira gy’ava omusango gutandike okuwulirwa.

 

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top