Amawulire

Akakiiko kébyókulonda keetaaga ensimbi 1.3Tn ziyambe mu kutegeka okulonda kwa 2026.

 

Akakiiko k’ebyokulonda kasuubira okukozesa omugatte gwa shs1.38 trillion mu kutegeka okulonda kwa bonna okujja mu 2026.

Bino byogeddwa ssaabawandiisi w’akakiiko kano, Leonard Mulekwah, mu kutongoza enteekateeka y’akakiiko kano eyomwaka gwa 2022-2023- 2026-2027 n’enteekateeka y’okulonda 2025-2026 mu Kampala.

Okusinziira kuntekateeka omulimu ogwokwekenenya empapula zóbuyigirize eri abo abagala okwesimbawo mu bifo okuli ekya pulezidenti, Palamenti ne gavumenti ez’ebitundu kutandika nga 3rd July 2025- 1st August 2025.

Okukunganya ebiwandiiko by’abalonzi ku bifo by’abavubuka, abaliko obulemu, abakadde , abakozi, amaggye ga UPDF, n’ebitongole by’abakugu kutandika okuva nga 3rd -24th January 2025.

Abakozi ba gavumenti abagala okwesimbawo nga balina ofiisi balina wakati wa 2rd August okutuuka nga 13th June 2025.

Okwetegereza lijesita yábalonzi ku miruka kutandika nga 3rd January- 24th January 2025.

Okusunsula abesimbyewo ku mutendera gwa gavumenti  ey’ebitundu kutandika nga 14th July 2025- 12th December 2025.

Songa okulonda pulezidenti, ababaka ba palamenti nábakulembeze ku gavumenti ez’ebitundu kwakubeerawo nga 12th January -9th February 2026.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top