Amawulire

Bakungubagidde Munna NRM Vincent Kimbugwe.

Abantu ab’enjawulo bakungubagidde abadde munna NRM, Vincent Kimbugwe eyattibwa ku Lwokuna lwa Ssabbiiti ewedde abantu abatannategeerekeka omulambo gwe ne gusuulibwa e Bwaise mu Kampala.

Yaziikiddwa ku kyalo Lukakka A mu ggombolola y’e Mitete mu disitulikiti y’e Ssembabule. Kimbugwe yeesimbawo ku bubaka bwa Palamenti emirundi egiwera ng’awangulwa. Mu kalulu ka akawedde aka 2021 yawangulwa omubaka owa NUP Gorret Namugga.

Gorret Namugga asabye abantu okukomya okuwoolera eggwanga beeyise nga abazadde n’alaga obweraliikirivu ku bantu abasaba lipooti ate nga be batugumbula Bannayuganda n’asaba abakulembeze balambike abantu.

Munywanyi w’omugenzi era nga ye yali ssentebe wa disitulikiti y’e Lwengo George Mutabaazi asabye abakuumaddembe okukola ekyetaagisa okulaba nga ffamire efuna obwenkanya nga bwe guli ku mugenzi Kaweesi n’ayogera ku mugenzi ng’abadde omukalabakalaba mu by’obufuzi.

Okuziika kwetabiddwako ba RCC ab’enjawulo mu kampala, Minisita omubeezi ow’ebyamazzi Aisha Sekindi ne minisita omubeezi ow’ebyobulamu Anifa Kawooya ng’ono ayogedde ku mugenzi ng’abadde omuntu ayagaliza abalala era bwe babadde bawabuling’ana mu by’obufuzi.

Omugenzi alese abaana 4. Nnamwandu Jane Kimbugwe ategeezezza nti afudde mulokole asonyiye buli muntu n’asaba Katonda abagumye.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top
// Infinite Scroll $('.infinite-content').infinitescroll({ navSelector: ".nav-links", nextSelector: ".nav-links a:first", itemSelector: ".infinite-post", loading: { msgText: "Loading more posts...", finishedMsg: "Sorry, no more posts" }, errorCallback: function(){ $(".inf-more-but").css("display", "none") } }); $(window).unbind('.infscr'); $(".inf-more-but").click(function(){ $('.infinite-content').infinitescroll('retrieve'); return false; }); if ($('.nav-links a').length) { $('.inf-more-but').css('display','inline-block'); } else { $('.inf-more-but').css('display','none'); } // The slider being synced must be initialized first $('.post-gallery-bot').flexslider({ animation: "slide", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, itemWidth: 80, itemMargin: 10, asNavFor: '.post-gallery-top' }); $('.post-gallery-top').flexslider({ animation: "fade", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, prevText: "<", nextText: ">", sync: ".post-gallery-bot" }); });