Amawulire

Bamusazeeko omutwe ne gugwa eri!.

Abatuuze babuutikiddwa entiisa omwana wa munnaabwe bw’asangiddwa nga asaliddwaako omutwe ne gugwa eri mu ngeri etannategeerekeka!                                 

Abatuuze obutemu babusibye ku muganzi we gwe yali yazaalamu omwana ne baawukana kyokka omuwala bwe yakomyeewo ku kyalo ababiri bano ne baddamu okutijja era obwedda balabibwaako beevuga ku pikipiki abatuuze ne bakimanya nti taata w’omwana yaavuga maama w’omwanawe.

Atiddwa mu bukambwe ye Precilla Agashiru muwala wa Toko Richard  ku kyalo Luwayo mu division ye Kawolo Lugazi Municipality mu district y’e Buikwe.

Abakungubazi babadde balumiriza omuvubuka wa Bodaboda Eclairs Wazemba okutta omuwala ono nti kuba yabadde naye eggulo limu wabula okuvaayo n’abategeeza nti baagudde mu batemu munne ne bamutta kyokka ne batasobola kutwala pikipiki alimba alimba!

Abakulira Poliisi okubadde DPC wanLugazi, John Lukooto bakutte Wazemba abayambeko mu kunoonyereza.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top