Amawulire

Alien Skin yankomezawo  mukuyimba – Diana Nalubega .

Omuyimbi Diana Nalubega n’okutuusa kati akyewuunya omutima gwa muyimbi munne Patrick Mulwana amanyiddwa nga Alien Skin owa Sitya Danger.

’Bannange ekituufu kiri nti nze eby’okuyimba nali nabivaako olw’okuvuganya okukulimu. Kyokka nabadde awo ne nfuna essimu, olwagikutte omuntu n’ang’amba nti nze ‘Kimenke’. Nasoose ne ntyamu ne mubuuza nti ggwe ani…..? Yazzeemu nti nze Kimenke, oli luddawa, njagala kwogerako naawe.

Namulagiridde we nnabadde era mu ddakiika nga 20 yabadde atuuse ne twogera ebintu bingi nga bw’ambuuza lwaki sikyayimba.

Namulaze engeri okuyimba gye kuli okw’ebbeeyi ennyo nga mulimu okuvuganya okw’amaanyi n’amakuuli kyokka n’ansaba okumwegattako nzire mu katale tukoleyo collabo ekyatuukiridde’.

Nalubega bwe yanyumizza ku ngeri gye yatuuseemu ku Fangone Forest n’akola n’oluyimba bye yali yasangula mu bwongo bwe.

Olwatuuse e Makindye baayingiriddewo situdiyo ne bakola oluyimba lw’omukwano lwe baatuumye ‘Adam Wange’ era Alien yawuliddwa ng’afubutuka amalaga.

Mu nnaku ntono erinnya ‘Diana Nalubega’ lyazzeemu dda okuvuga. Ono ye yayimba ennyimba nga ‘Wandibikoze, Kabiite, Kisumuluzo’ n’endala.

Nalubega yategeezezza nti ebbanga ettono lye baanyumirizza, Alien yamulaze lwaki alina okudda mu ndongo kubanga kano kalinga katale abasuubuzi gye bayiwa emmaali yaabwe olwo abaguzi ne beeronderako be bagulako ng’ate akatale kabamala bonna abayimbi era buli omu alina abaaguzi be. 

Yavuddeyo amutenda obukozi n’obuyiiya kubanga wadde Nalubega yabadde n’omulamwa gwe wamu n’ebigambo bye, ye Alien yabiyiiyirizza awo ate ne binyumirawo.

 

 

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top