Ssabadeconi w’eNdeeba mubulabirizi bwe eMukono Ven. Edward Kironde Balamaz wamu nebanadini abalala basinzidde kumamatikira go omukama wo oBunyala Ssabanyala Maj. Kimeze Mpagi Byarufu2 ag’omulundi ogwo 13 okwabadde ku kitebbe ekikulu ekyobunyala eBbaale kulwokutanu nebamutabukira mumaso ga minisita we ekikula kya abantu Hon Anita Amongi nga bagala agge abasirikale ba amagye mubantu ne emundu mubyaalo.
Balamaze yambye Ssabanyala nti Bbaale kati yafuka batalioni ya amagye nga buli watunura Mundu era ntizisuse mu Ggombolola ye Bbaale era nti yakitegedeko nti abasirikale bakozesa emundu zino okutulugunya abantu nti namusaba agye emundu mubantu kubanga abantu baliwo kulwamirembe.
Ono era ategezezza nti Ssabanyala yadibadde teyenyigira buterevu mu ntalo ze ettaka nti emirimo nga gino gya ndibadde gikolebwa katikiro ne baminita be okuwera okufiirwa omukulembeze nga Ssabanyala munsonga nga zino entono.
“Abaami ba Ssabanyala mumutase waliwo entalo zatalina kwenyigiramu kubanga tetwagala kumufiirwa mukisera kino”. Bwatyo ssabadeconi Balamaze bwe yategezezza. Ono agamba omukulembeze alina okwewala empaka eziyinza okuvaamu entalo.
Wabula Ssabanyala ono yamwanukudde nti abamuwa amawulire amafu.benakigwanyizi abagala okubba ettaka era nti abubulire amazima newankubadde bamuwa ebirabo nokuzimba amakanisa kubanga sente ye ekibi terimu Mukisa.
“Ssabadeconi sente bazikuwe zimba amakanisa nye nga babulilira bakomye obubbi.” Sabanyara nti babadde balina ebibira 3 nga ebiri babitwaala dda nga ekibira kye babasde basigaza nti singa nakyo bakitwaala Bugerere ayolekedde edungu nga abantu tebalina kweyibaala.
Ono yakangudde kudoboozi nalabula abo bona abamutisatisa okumutta nti tewali alina filo kubulamubwe era tagya kutulabutuzi nga banakigwanyizi banyaga ebibira.
Kimeze agamba nti ababi bano tebalina kye batabye mubugerere okutandikira ku ploti 50 ku 100 okutuuka ku siquare milo nti nebalina kisa nga naye tayinza kukwatisa kisa.
Embeera mubitundu bye Ebaale ya Bunkenke oluvanyuma lwo okubalukawo obtakanya ku ttaka lye ekibira kye Bajjo ekyavirako olutalo wakati wa ssabanyala ne eyali Rdc w’eKayunga Madoyi okutuuka okurwanagana bwe baali bagenze kuttaka.
Minisita we ekikula kya abantu Hon. Betty Amongi eyakiride plesidenti mubuka bwa pulesidenti bwe yasomye yeyamye olaba nga akwatagane ne ssabanyalo okumalawo obugulumbo ku ttaka era neyeyama okusisinkana nabo okuteka munkola ebyabasubizibwa.
Ye omubaka we ekitundu kitundu kino Charles Tebandeke yeyamye okukwatira wamu ne ssabanyala okumala ekiba ttaka nti bayiye musaayi.
Amatikiria ga Ssabanyala Maj. Kimeze Mpagi Byarufu2 ago mulundi ogwe 13 gabadde kumulamwa ogwo okubanjja obwetwazze bwabwe nga bakyarwana okwekutula ku Buganda.