Ebyobufuzi

Banadiini batabukdde Ssabanyala ku basirikale be abatulugunya abantu eBbaale

Banadiini batabukdde Ssabanyala ku basirikale be abatulugunya abantu eBbaale

Ssabadeconi w’eNdeeba mubulabirizi bwe eMukono Ven. Edward Kironde Balamaz wamu nebanadini abalala basinzidde  kumamatikira go omukama wo oBunyala Ssabanyala Maj. Kimeze Mpagi Byarufu2 ag’omulundi ogwo 13 okwabadde ku kitebbe ekikulu ekyobunyala eBbaale kulwokutanu  nebamutabukira mumaso ga minisita we ekikula kya abantu Hon Anita Amongi nga bagala agge abasirikale ba amagye mubantu ne emundu mubyaalo.

Balamaze  yambye Ssabanyala  nti Bbaale kati yafuka batalioni ya amagye  nga buli watunura Mundu  era ntizisuse mu Ggombolola  ye Bbaale era nti yakitegedeko nti abasirikale bakozesa emundu zino okutulugunya abantu nti namusaba agye emundu mubantu kubanga abantu baliwo kulwamirembe.

Ono era ategezezza  nti Ssabanyala  yadibadde teyenyigira buterevu mu ntalo ze ettaka nti emirimo nga gino gya ndibadde gikolebwa katikiro  ne baminita be okuwera okufiirwa omukulembeze  nga Ssabanyala  munsonga nga zino entono.

“Abaami ba Ssabanyala mumutase waliwo entalo zatalina kwenyigiramu kubanga tetwagala kumufiirwa mukisera kino”. Bwatyo ssabadeconi Balamaze bwe yategezezza. Ono agamba omukulembeze alina okwewala empaka eziyinza okuvaamu entalo.

Wabula Ssabanyala  ono yamwanukudde nti abamuwa amawulire  amafu.benakigwanyizi abagala okubba ettaka era nti abubulire amazima newankubadde bamuwa ebirabo nokuzimba amakanisa kubanga sente ye ekibi terimu Mukisa.

“Ssabadeconi  sente bazikuwe zimba amakanisa nye nga babulilira bakomye obubbi.” Sabanyara nti babadde balina ebibira 3 nga ebiri babitwaala dda nga ekibira kye babasde basigaza nti singa nakyo bakitwaala Bugerere ayolekedde edungu nga abantu tebalina kweyibaala.

Ono yakangudde kudoboozi nalabula abo bona abamutisatisa okumutta nti tewali alina filo kubulamubwe era tagya kutulabutuzi nga banakigwanyizi banyaga ebibira.

Kimeze agamba nti ababi bano tebalina kye batabye mubugerere okutandikira ku ploti 50 ku 100 okutuuka  ku siquare milo nti nebalina kisa nga naye tayinza kukwatisa kisa.

Embeera mubitundu  bye Ebaale ya Bunkenke oluvanyuma lwo okubalukawo obtakanya ku ttaka lye ekibira kye Bajjo ekyavirako olutalo wakati wa ssabanyala ne eyali Rdc w’eKayunga Madoyi okutuuka okurwanagana bwe baali bagenze kuttaka.

Minisita we ekikula kya abantu Hon. Betty Amongi eyakiride plesidenti  mubuka bwa pulesidenti  bwe yasomye  yeyamye olaba nga akwatagane ne ssabanyalo okumalawo obugulumbo ku ttaka era neyeyama okusisinkana nabo okuteka munkola ebyabasubizibwa.

Ye omubaka we ekitundu kitundu kino Charles Tebandeke  yeyamye okukwatira wamu ne ssabanyala okumala ekiba ttaka nti bayiye musaayi.

Amatikiria ga Ssabanyala  Maj. Kimeze Mpagi Byarufu2 ago mulundi ogwe 13 gabadde kumulamwa ogwo okubanjja  obwetwazze bwabwe nga bakyarwana okwekutula  ku Buganda.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top