Amawulire

Banna basimattuse okwokebwa munju.

Abantu 4 bawonedde watono okufiira mu muliro ku kyalo Kawuula A mu muluka gwe Kisozi mu ggombolola ye Kifampa mu district ye Gomba, abantu abettima bwebayiye amafuta ga petroli ku nnyumba yabwe nebakoleeza Omuliro.

Bino byonna bibaddewo mu kiro ku ssaawa nga  9 nékitundu  e Kawuula Kisozi mu Maka g’omukyala Namugenyi Hannipher ow’emyaaka 70.

Abazigu bayisizza amafuta ga petroli mu bituli by’oluggi lw’ennyumba olw’emiryango. Ebituli ebyo byajjamu omwaka nga gumu emabega ng’era kigambibwa okuba nga waliwo abazigu abaalumba amaka g’omukyala Oyo nebayasa endabirwamu ezaali muluggi.

Omukyala Namugenyi Hannipher mukwogerako n’omusasi wa Cbs agambye nti mu kiseera webabakoleddeko obulumbaganyi, muzzukuluwe omuwala  ow’emyaka 20 yabadde azze kubakyalirako námwalira mu ddiiro weyasuze, yeyawulidde abantu nga bayiwa amafuta mu nnyumba nebakoleeza omuliro olwo nálaya enduulu eyazuukusizza abalala.

Baayanguye nebayita mu luggi lw’emanju nebafuluma ennyumba. Abadduukirize baatuuse mangu enebayambako okuzikiza omuliro ogwabadde gutandise okusaasaanira enju.

Namugenyi Hannipher agambye nti abadde yakamala ku kyalo Kiwuula emyaka 6, era nti abadde tafunanga mpalana ku muntu yenna,násaba police emuyambe enoonyereze abakoze ekikolwa kino nékigendererwa kyabwe.

Ssentebe w’omuluka gw’e Kisozi Gomba Ssalongo Male Yazid nga yoomu kubadduukiridde enduulu agambye nti engalama eyassibwa waggulu mu nnyumba yeyambyeko omuliro obutasaasaanira bisenge birala.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top