Eyaliko pulezidenti w’e kibiina kya FDC Dr Kiiza Besigye ayongedde okwambalira gavumenti okulemererwa okutekeratekera eggwanga mu kiseera nga omugalo ku bintu ebimu gwagiddwawo kyokka gavumenti telina ntekateeka yamanyi gyetadewo okulwanyisa Covid mu ggwanga ate ebikyali ku mugalo okuli amasomero byelabiddwa mu manyi ekigenda okufiiriza abaana n’ebananyini masomero
Besigye agambye nti okusiba amasomero kintu kikyamu nnyo kubanga kigenda kifiiiriza eggwanga abaana bangi okutegeera kubanga nti okuva Corona weyagya mu ggwanga kati emyaka giweza 2 ng’a ababna bye basoma tebitegerekeka kubanga basomayo kato ate gavumenti nelangikira omugalo ekintu Besigye kyagambye nti kigenda kutattana ebyensoma mu ggwanga nasaba gavumenti egukewo amasomero, bino Besigye abyogeredde ku ofiisi ye esangibwa ku luguudo Katonga mu Kampala nga lwetabiddwako ne loodi meeya wa Kampala Saalongo Erias Lukwago mu lukungaana lwa bamawulire.
Agamba nti gavumeti ekole ebilina okukolebwa ereme kussa bantu ku mugalo omuli okuteeka abasawo abamala mu malwaliro, okuteeka omukka gwa Oxgyen mu mwaliro nga bino webinakolebwa amasomero gasobola okugulibwa mu bwangu.
Besigye yakowoodde banna Uganda okuva mu kwebaka baveeyo balage obutali bumativu kubanga ekigenderwa kya gavumenti kiyinza okubeeza amasomero ku mugalo kigenda kukonzibya abaana abasoba mju bukadde 15 nga baduffe tebamanyi kuwandiika wa ddde okusoma nolwekyo bgule amasomero.
Loodi Meeya Lukwago asabye gavumenti okwonvera ssente mu bbanka y’ebyibusubuzi UDB kiyambe abasuubuzi okufuna ssente okweddabululua.
Bino webigidde nga waliwo bananyini asomesa nga bakukembeddwa Chritipher Kiwanuka bavuddeyo batwale bbanka enkulj mu kkooti nga bagamba nti yalemereddwa okukwatagana ne bbanka entontona kubanga zibalemeddeko okubakanda looni ate nga babadde tebakyayingiza ssente yonna.
Bagambye nti bakooye okuswazibwa ekitibwa kya basomesa kigudde nnyo ate nag gavumenti yelemererwa okubatusaako ssente zabwe obuwumbi abiri kyokka ate nebazigabira abantu abarala abatali mu bwetavu nebabaleka nga bayaga tebalina kyakulya abasomesa ekitibwa kyabwe kyavaawo kubanga abamu kati emirimu gyebakola gyegyo gyebazze bagamba abayizi nga bagaanye okusoma omuli okukuba bulooka , okusiika chapati, nemirala.
Abamu. Agambye nti singa embeera enayogera okubanyiga bakuvaayo beyambulira abakulira eby’enjigurizza mu ggwanga kubanga baganye okufaako nga balinga abagamba nti tebaleta Covid mu ggwanga.
Gavumenti etandise okutekateeka ku ngeri abayizi n’abasomesa gyebagenda okudda ku masomero.