Ebyobufuzi

Besigye ayongedde okuluma gavumenti ku mugalo, abasomesa balabudde okweyambula batambule bukunya

Besigye ayongedde okuluma gavumenti ku mugalo, abasomesa balabudde okweyambula batambule bukunya

Eyaliko pulezidenti w’e kibiina kya FDC Dr  Kiiza Besigye ayongedde okwambalira gavumenti okulemererwa okutekeratekera  eggwanga mu kiseera nga  omugalo ku bintu ebimu gwagiddwawo kyokka gavumenti telina ntekateeka yamanyi gyetadewo okulwanyisa Covid mu ggwanga ate ebikyali ku mugalo  okuli amasomero byelabiddwa mu manyi ekigenda okufiiriza abaana n’ebananyini masomero

Besigye agambye nti okusiba amasomero kintu kikyamu nnyo kubanga kigenda kifiiiriza eggwanga abaana bangi okutegeera kubanga nti okuva Corona weyagya mu ggwanga kati emyaka giweza 2 ng’a ababna bye basoma tebitegerekeka kubanga basomayo kato ate gavumenti nelangikira omugalo ekintu Besigye  kyagambye nti kigenda kutattana ebyensoma mu ggwanga nasaba gavumenti egukewo amasomero, bino Besigye abyogeredde ku ofiisi ye esangibwa ku luguudo Katonga mu Kampala nga lwetabiddwako ne loodi meeya wa Kampala Saalongo Erias Lukwago mu lukungaana lwa bamawulire.

Agamba nti gavumeti  ekole ebilina okukolebwa ereme  kussa bantu ku mugalo omuli okuteeka abasawo abamala mu malwaliro, okuteeka omukka gwa Oxgyen  mu mwaliro  nga bino webinakolebwa amasomero gasobola okugulibwa mu bwangu.

Besigye yakowoodde banna Uganda okuva mu kwebaka baveeyo balage obutali bumativu kubanga  ekigenderwa kya gavumenti kiyinza  okubeeza amasomero ku mugalo kigenda kukonzibya abaana abasoba mju bukadde 15 nga baduffe tebamanyi kuwandiika wa ddde okusoma nolwekyo  bgule amasomero.

Loodi Meeya Lukwago asabye gavumenti okwonvera ssente mu bbanka y’ebyibusubuzi UDB kiyambe abasuubuzi okufuna ssente okweddabululua.

Bino webigidde nga waliwo bananyini asomesa  nga bakukembeddwa Chritipher Kiwanuka bavuddeyo batwale bbanka   enkulj mu kkooti nga bagamba nti  yalemereddwa okukwatagana ne bbanka entontona kubanga zibalemeddeko okubakanda looni ate nga babadde tebakyayingiza ssente yonna.

Bagambye nti bakooye  okuswazibwa ekitibwa kya basomesa kigudde nnyo ate nag gavumenti yelemererwa okubatusaako ssente zabwe obuwumbi abiri kyokka ate nebazigabira abantu abarala  abatali mu bwetavu nebabaleka nga bayaga tebalina kyakulya  abasomesa ekitibwa kyabwe kyavaawo kubanga abamu kati emirimu gyebakola gyegyo gyebazze bagamba abayizi nga bagaanye okusoma omuli okukuba bulooka , okusiika chapati, nemirala.

Abamu. Agambye nti singa embeera enayogera okubanyiga bakuvaayo beyambulira abakulira eby’enjigurizza mu ggwanga kubanga baganye okufaako nga balinga abagamba nti tebaleta Covid mu ggwanga.

Gavumenti etandise okutekateeka ku ngeri abayizi n’abasomesa gyebagenda   okudda ku masomero.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top