Amawulire

Buganda yakusitula ebyenfuna by’abantu, yasomye embalirira ya buwumbi 157

Obwakabaka bwa Buganda bwakwongera okutumbula ebyenfuna bya bantu nga buyita mu bibiina by’obweggasi okusobola okubakulaakulanya n’okulwanyisa obwavu obubeesibyeeko.

Bino byogeddwa Omuwanika wa Buganda era Omumyuka ow’okubiri owa Katikkiro, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa  bweyabadde ayanjulirira abakiise b’Olukiiko embalirira y’omwaka guno ogwa 2022/2023 nga luno lwabadde lukubiriziddwa Sipiika Patrick Luwaga Mugumbule .

Embalirira eno egenda kutambulira wansi w’omulamwa  ogugamba nti ‘Okunyikiza obuwereza eri abntu nga tuli bumu’.

Minisita Nsibirwa yategeezezza nti wadde embeera y’ebyenfuna yakosebwa nnyo ekirwadde ki Corona naye Obwakabaka busobodde okukola obulungi era y’ensonga lwaki embalirira y’omwaka guno esinze kwewedde n’obuwumbi obusoba mu 33.

Emablirira y’omwaka 2022/ 2023  eyasomeddwa ya buwumbi 31 n’obukadde 781 obutegekeddwa mu nteekateeka eno mu mbalirira eyobuwumbi 157 obukadde 849 n’emitwalo 26134 ng’eno erinnye ebitundu 27 ku buli 100.

Owek. Waggwa yasoose kulaga ebituukiddwako mu mbalirira eyomwaka gw’ebyenismbi oguwedde 2021/22 era byasukako mu byebateekateeka okukola nga bitambulira mu Ssemasonga ettaano nalaga ensonga ez’omuzinzi ezireetedde embalirira eno okulinnya.

Okusinziira ku mbalirira, Obuwumbi 31 n’obukadde 781 buteereddwamu okusitula ebyenfuna mu bantu ba Ssaabasajja Kabaka nga bino byakukolebwa nga bayita mu bibiina by’Obweggasi ebyenjawulo.

Ate obuwumbi 22 n’obukadde 65, ziteereddwa mu kusiga ensimbi n’obusuubuzi nga bazimba ebizimbe ebiggya awamu n’okumaliriza ebyo ebyatandikibwako omwaka oguwedde okusobola okugaziya ennyingiza mu Bwakabaka.

Minisita Waggwa Nsibirwa yategeezeeza nti eby’enjigiriza nabyo babitaddemu amaanyi nga kuluno babitaddemu obuwumbi obuwera 20 okusobola okutendeka abaana b’Omutanda ku lwebiseera eby’omu maaso.

Mu mbalirira eno eby’obulamu byongeddwamu amaanyi nga ku luno bifunye obuwumbi 4 n’obukadde 275 nga zino zakuyamba okulwanyisa Mukenenya mu bitundu nga Kyotera, Wakiso, Kalangala n’ebirala.

Owek. Nsibirwa yannyonnyodde nti okwongera okulwanyisa obwavu n’ebbula ly’emirimu mu Buganda bagenda kukugaanya abantu abalina obukugu basobole okubakwasaganya nababeetaaga nga kino bakuyisa ku mutendera gw’Amasaza.

Okusinziira ku Minisita Nsibirwa bakufuba okutumbula empeereza mu Pulojekiti z’Obwakabaka zonna era kino bakukikola nga bakolagana n’ekitongole ki Directorate of Industrial Training (DIT).

Owek. Nsibirwa era yalaze nga Buganda bwetegese,  okwagazisa abavubuka okwettanira ebyobulimi nga bayita mu nteekateeka ezituumiddwa Muvubuka Tolannama ne Muvubuka Ttolera Ngalo,  Boda Fix ngeno etunuulidde nnyo abawala wakati mu kukwatagana ne bannamikago okutumbula ebyenfuna byabwe.

Ensonga y’okubbulula Obutondebwensi eweereddwa obuwumbi 3 n’obukadde 182 ate nga abavubuka n’ebyemizannyo baweereddwa obuwumbi 2 n’obukadde 29.

Eby’obulimi biweereddwa obuwumbi 2 n’obukadde 2 okwongera okwagazisa abavubuka omulimu gw’okulima era bagutwale nga gwankizo.

Minisita  Nsibirwa yategeezezza  nti  batadde obuwumbi 7 n’obukadde 344 mu bukulembeze n’emirimu era nakakasa nti bakugulira abantu abawangaalira mu bizinga bye Buvuma eryato okugonza entambula.

Ku luno abakiise tebakubaganyiza birowoozo nga bwegutera okuba naye ssentebe w’akakiiko k’ebyensimbi mu Lukiiko luno, Owek. Prof Umaru Kakumba yayisiza ekiteeso okuyisa embalira eno era nekiwagirwa.

Eno yembalirira ekyasinze okuba enene bukyanga Obwakabaka buzibwawo mu mwaka gwa 1993 era Olukiiko luno lwetabiddwamu  Omulangira David Kintu Wasajja, Ssentebe wakabondo ka Buganda Caucus Muwanga Kivumbi, Apostle Joseph Sserwadda, Anderson Burora RCC wa Lubaga nga waliwo nabalwetabyeko nga bayita ku nkola ya Zoom.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top