Amawulire

Dr. Paul Kawanga Ssemogerere aziikibwa leero

Dr. Paul Kawanga Ssemogerere yazaalibwa nga 11 February,1932 ku kyalo Bumaanyi Kalangala mu bizinga bye Ssese.

Yasomera mu St. Henry’s College Kitovu, yafuna Diploma mu byenjigiriza okuva mu Makerere University, yafuna degree mu ssomo lya Politics and Government okuva mu ttendekero lya Allegheny College e Meadville Pennsylvania.

Mu 1979  yafuna Doctor of Philosophy (PhD) degree mu public administration okuva mu Syracuse University New York mu America.

Wakati wa 1961–62 Ssemogerere yaloondobwa ng’omubaka wa parliament eyayitibwanga Legislative Council ne National Assembly of Uganda.m ng’akiikirira ekitundu ekyayitibwanga North Mengo Constituency.

Okuva mu 1972 yalondebwa okubeera Ssenkaggale wa Democratic Party, ng’adda mu bigere bya Benedicto Kiwanuka.

Wabula mu biseera weyalondebwa yali mu buwanganguse gyeyagenda mu 1971 okutuuka mu 1979, lweyakomawo mu ggwanga era nafuuka minister w’ensonga z’abakozi.

In 1980, Paul Ssemogerere mu butongole yafuuka ssenkaggale wa Democratic Party gyeyakulembera okumala emyaka 25, okutuuka lweyawummula ebyobufuzi mu 2005.

Ssemogerere yesimbawo okuvuganya ku bwa president bwa Uganda emirundi ebiri: Ogwasooka kaali ka lululu ka 1980 akaawangulwa Milton Obote owa Uganda People’s Congress akagambibwa okuba nti kabbibwa bubbibwa, era kano kekaavirako Yoweri Kaguta Museven ne banne okugenda mu nsiko.

Okuva mu 1981 okutuuka 1985 Ssemogerere yeyali akulira oludda oluvuganya government mu parliament.

Wakati wa 1985 – 1986, Ssemogerere yeyali minister w’ensonga zomunda mu ggwanga ku mulembe gwa Tito Lutwa.

Ekifo ekyo yakisigalako president Museven awambye obuyinza okutuuka mu 1988.

Yalondebwa nga minister w’ensonga z’amawanga amalala okuva mu 1988 – 1994.

Yafuuka minister w’ebyemirimu wakati wa 1994 – 1995.

Era ye yali omumyuka wa Ssaabaminister w’eggwanga, okuva mu 1986 okutuuka mu June 1995 weyalekulira obuweereza bwe mu government ya NRM, nga yeteekateeka okwesimbawo okuvuganya ku bwa president bwa Uganda mu kulonda kwa 1996 akaawangulwa Yoweri Kaguta Museveni.

Ssemogerere era yaliko omukiise wa Uganda ku lukiiko lw’omukago gw’amawanga ga Africa ogwa Organisation for African Unity (OAU), era yeyali ssentebe w’olukiiko lwa ba minister bonna abavunaanyizibwa ku nsonga z’omukago (Council of Ministers) wakati wa 1993 – 1994.

Mu 1999 yakulemberamu kaweefube w’okuzza ebibiina by’obufuzi mu ggwanga okuggyayo enfuga y’ekipooli oba Movement.

Weyawummulira eby’obufuzi mu 2005, nga bannauganda okuyita mu kalulu k’ekikungo basazeewo okuddayo mu bibiina by’obufuzi ebyali byawerebwa Milton Obote mu 1966.

Mu November wa 2005, Dr.Paul Kawanga Ssemogerere yannyuka ebyobufuzi, wabula yasigala alungamya bannabyabufuzi naddala abali ku ludda oluvuganya government era bangi abayise mu mikono gye.

Mu 2011 Dr. Paul Kawanga Ssemogerere yawebwa engule ya Ssabbasaba 2011, e y’omuntu eyali asinze okulwanirira enfuga eya democracy n’emirembe eyamuwebwa aba Ssabbasaba Flame Award.

Gyebuvuddeko Nnyininsi Kabaka Ronald Mutebi II yamusiima n’amuwa ejjinja ery’omuwendo.Ejjinja lino Ssemogerere yaliwaayo eri bannabyabufuzi okubakuutira okukola n’amaanyi nga teberabidde nnyabwe Buganda, ate n’okukulembeza obumu mu buweereza bwabwe.

Dr.Paul Kawanga Ssemogerere yavudde mu balamu bw’ensi eno nga 18 November,2022 mu maka ge Kabuusu mu gombolola ye Lubaga mu Kampala.

Ssemogerere alese Namwandu Prof.Germina Namatovu Ssemogerere omukugu mu bya economics era yakulirako ebbanguliro lyebyenfuna ku University e Makerere, n’abaana Grace Nabatanzi (yafa mu 2011), Karooli Ssemogerere ono munnamateeka mu USA, Anna Namakula akolera mu Foundation for African Development, Immaculate Kibuuka mukugu mu by’emisono ne Paul Semakula yebuuzibwako mu bya ICT.

Dr.Paul Kawanga Ssemogerere aziikibwa leero nga 21 November,2022 ku kyalo Nattale-Bufulu-Nkumba mu town council ye Entebbe.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top
// Infinite Scroll $('.infinite-content').infinitescroll({ navSelector: ".nav-links", nextSelector: ".nav-links a:first", itemSelector: ".infinite-post", loading: { msgText: "Loading more posts...", finishedMsg: "Sorry, no more posts" }, errorCallback: function(){ $(".inf-more-but").css("display", "none") } }); $(window).unbind('.infscr'); $(".inf-more-but").click(function(){ $('.infinite-content').infinitescroll('retrieve'); return false; }); if ($('.nav-links a').length) { $('.inf-more-but').css('display','inline-block'); } else { $('.inf-more-but').css('display','none'); } // The slider being synced must be initialized first $('.post-gallery-bot').flexslider({ animation: "slide", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, itemWidth: 80, itemMargin: 10, asNavFor: '.post-gallery-top' }); $('.post-gallery-top').flexslider({ animation: "fade", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, prevText: "<", nextText: ">", sync: ".post-gallery-bot" }); });