Agebunayila

Ebizuuse kumunnamateeka eyafiiride mu kabenje kulw’ Entebbe

Gy’abadde milanga nabiwoobe mu famire ya Munnnamateeka Okiot Raphael eyakakasidwa okufiira mu kabenje akagudde e Nkumba ku bitaala awali amasang’anzira agadda ku Ssettendekero wa Nkumba university enaku bbiri eziyise.

Kino kiddiridde ekimotoka ekitabula enkokoto ekya Kampuni ya ciyan and brothers construction nnamba UAN 836D okulemerera omugoba waayo negwiira ey’obuyonjo ekika kya Mitsubishi RVR namba UBQ 371P agibaddemu nafiirawo.

Okiot abadde munnnamateeka nga akola ne ba Maldes Law firm mu Kampala era nga abadde agenda mu kkooti Entebbe.

Ono era y’abadde mwami w’omulamuzi w’ eddaala erisooka e Kyenjojo Faith Irene Kwagala era abadde musomesa w’ amateeka ku ssetendekero wa UCU e Mukono.

Ye ddereeva w’ekimotoka kino yaddusiddwa mu Ddwaliro okufuna obujjanjabi NGA TAASIBEWO TAASULEWO YALI KUMIMWA GYABANTU.

Bino webijjidde nga wakayita ennaku mbale ng’ abayizi ba Buganda Royal Institute of Business and Technical Education bana (4) nabo bafiiridde ku luguudo lwelumu e Kisubi.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top
// Infinite Scroll $('.infinite-content').infinitescroll({ navSelector: ".nav-links", nextSelector: ".nav-links a:first", itemSelector: ".infinite-post", loading: { msgText: "Loading more posts...", finishedMsg: "Sorry, no more posts" }, errorCallback: function(){ $(".inf-more-but").css("display", "none") } }); $(window).unbind('.infscr'); $(".inf-more-but").click(function(){ $('.infinite-content').infinitescroll('retrieve'); return false; }); if ($('.nav-links a').length) { $('.inf-more-but').css('display','inline-block'); } else { $('.inf-more-but').css('display','none'); } // The slider being synced must be initialized first $('.post-gallery-bot').flexslider({ animation: "slide", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, itemWidth: 80, itemMargin: 10, asNavFor: '.post-gallery-top' }); $('.post-gallery-top').flexslider({ animation: "fade", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, prevText: "<", nextText: ">", sync: ".post-gallery-bot" }); });