Amawulire

Ebya Ssegiriinya ne Ssewannyana biibi. Ddaala waliwo abalondola?

Bano babadde  mu kkomera okumala emyezi 18 ku misango egyekuuusa kuttemu ly’ebijambiya omwafiira abakadde n’okulumya abalala e Masaka.

Omulamuzi wa kkooti enkulu e Masaka Lawrernce Tweyanza yakkiriza ababaka okweyimirirwaku kakalu ka kkooti ka bukadde 20 obwa ssente za Uganda obwobuliwo,okuleka, paasipooti zaabwe mu kkooti.

Ssemujju agambye nti okugenda e Masaka yali asuubira nti okuwulira okusaba kweyimirirwa kw’ababaka kugenda kumala ennaku 3 ng’omulamuzi bwe yali alagidde mu kusooka,kyokka kyamwewuunyisa abantu okuyimbulwa kulunaku olwo.

Yeewuunyizza pulezidenti Museveni ng’asanyuka n’okubuukira ku ttivi ng’abyokwerinda batulugunyizza abamuvuganya nga n’olumu yatuuka okuwaana aba SFC nti baakubye bulungi Bobi Wine bwe yakwatibwa mu kalulu k’omu Arua,kyokka nga Bobi Wine yali asigaddeko kikuba mukono.

Kyoka ate n’afuna ekisa eky’enjawulo ku Ssegirinya ne Ssewanyana gavumenti ye n’ekkiriza beeyimirirwe.

Museveni akuuma ebyama.

Mwesigwa ategeezezza nti abadde beesunga okulaba ku bifaananyi bya Ssegirinya,Ssewanyana n’abeenyingira mu nteeseganya z’okubayimbula nga zikwajja bakkakkane nti kubanga Museveni musajja mukulu era ow’obuvunaanyizibwa akuuma ebyama.

Alabudde abaava mu DP okwesogga NUP.

Wabula alabudde aba NUP naddala abamu ku babaka ba palamenti nga baava,’Democratic Party’-DP okugenda empola Mao akulembera ekibiina kubanga essaawa yonna agenda kubaabya kubanga ye ng’omuntu obujulizi abulina obubaluma ku ngeri gye babadde bakukutamu ne gavumenti era nga balya nu ku ssente okuva ewa Museveni.

Ani yawaayo ssente obukadde 40 ezeeyimirira ababaka?

Mwesigwa asoomoozeza balooya b’ababaka abakulembelwamu Caleb Alaka ne Ssaalongo Erias Lukwago okuleeka obujulizi obukakasa nti ddala aba baasasula akakalu k’obukadde 20 buli musibe bwe yasasula okuyimbulwa.

Mwesigwa alumiliza nti ssente ezo zirina we zaava aweekusifu ne balooya gye batamanyi.Ono ategeezezza nti ebyokuyimbula ababaka balooya baabwe nabo byabasukka entegeera,n’abalabula nti balina okukomya okugenda nga beemulisa mu Bannayuganda nti be baataasa,anyonyola nti ddiiru y’okuyimbula Bassegirinya yatandika emyezi mingi emabega nga n’abasibe ne famire zaabwe babadde bategeezebwa byonna  ebigenda mu maso.

Lukwago akkirizza

Omuloodi  Lukwago yakkiriza nti kituufu balooya baagenda okuva e Masaka ku kkooti okutuusa ebbaluwa eyimbula abasibe ku kakalu ka kkooti,baasanga mu kkomera baabaggyemu dda.

Nabo nga balooya tebaategedde biwandiiko byagobererwa mu kubayimbula, wabula Lukwago yeesambye nti ye talina ky’amanyi ku bya nteeseganya.

Bassegirinya babadde baakowa aba opozisoni.

Mwesigwa ategeezezza  nti abasibe babadde baakoowa ab’oludda oluvuganya okubazanyirako ebyobufuzi nga kino baakibuulirako ne Mao mu kyama.

Eno  y’ensonga lwaki Ssewanyana mu wiiki ezzasembayo nga tannayimbulwa yeekweka akulira oludda oluvuganya gavumenti,Mathias Mpuuga Nsamba n’eyaliko ssenkaggale wa FDC,Dr.Kizza Besigye eyali alowooza nti bw’anaagenda ne mukyala w’omusibe bagenda kumukkiriza okumulaba ekintu ekitaasoboka.

Ssipiika abadde alondoola eby’okuyimbula Ssewanyana ne Ssegirinya.

Joseph Sabiiti,omwogezi wa sipiika wa palamenti Anita Among,ategeezezza  nti  mukama wa abadde afuna ebikwata ku nteeseganya z’okuyimbula ababaka buli wiiki okusobola okuwabula ku buli ekibadde kigenda mu maaso.

Ssaabawaabi wa gavumenti ayogedde.

Mu mboozi ey’akafubo ,omulamuzi Abodo akakasizza nga bw’ataafuna ku ssimu yonna okuva ewa pulezidenti Museveni ng’amuwa ebiragiro ku   by’okuyimbula ababaka.

Ono ategeezezza nti ekyamuwaliriza  okuwandiika satifikeeti ekkiriza ababaka okuyimbulwa,kyavudde ku mbeera yaabwe ey’obulamu ebadde yeeraliikiriza mu kkomera,okubeera ng’okunoonyereza ku misango gyabwe kwali kuwedde nga nobujulizi bwe bagenda okukozesa mu kuwozesa ababaka babukung’anyizza ne babutereka mu kifo ekyekusifu gye bakakasa nti tewali muntu asobola kubukwekula.

Olukwe okutta Ssegiriya.

Mwesigwa atubuulidde nti mu kiseera ekituufu ababaka bagenda kuvaayo beeyoleke ensi bakole  ne sitatimenti egenda okuyuuguumya oludda oluvuganya nga battottola obulumi bwe bayiseemu bwe balowooza nti bwabaleetebwa abamu ku bakama baabwe nga buva ku misoni ze baabatumako ne zitagguka.

Akasattiro keeyogedde mu NUP.

Ono ategeezezza nti embeera eno y’ereeseewo akasattiro mu NUP nga buli omu  atya nti ababaka bagenda kubaabya nga waliwo abagenda ewa Bobi Wine okwongera okugaziya ddiiru zaabwe  ze babadde bakola ewa pulezidenti Museveni olw’amasannyalaze ge yualina.

Omukulembeze w’oludda oluvuganya mu palamenti era omumyuka w’akulira akabondo ka Buganda mu NUP,MP Mathias Mpuuga yakakasizza  nti naye ababka yakomye okwogera nabo ku ssimu nga tanabasisinnkana maaso ku maaso,kino kye yabuulira mukamaawe Bobi Wine bwe yamukubira essimu okumubuuza nga  ye akulira  oludda oluvuganya oba yali alabye ku basajja be.

Lwaki bakyabakwese.

Wabula abakugu mu securite bategeezezza nti okukweka  ababaka kakodyo seccrite k’ekoze olwa ddiiru eteeberezebwa okubeera nga yakoleddwa ne pulezidenti  Museveni ng’ababadde babakozesa okukutuza ddiiru ennkabwe bayinza okubatuusaako obulabe.

Balooya baba Ssegirinya bakutuzi ba ddiiru.

Balooya Caleb Alaka ne Evens Ochieg abaakulembeddemu olutalo lw’okununula ababaka  mu kkomera era be baakulemberamu okwogerezeganya ne gavumenti okuyimbula abamu ku baali abakuumi ba Mumbere okuyimbulwa ne babafunira ne bbaasi z’amagye  ezaabazzayo ewaabwe.

Abalamuzi batabudde ekibalo.

Omulamuzi wa kkootti enkulu mu Kampala ewozesa emisango gya bakalibutemu bali ku ddaala ly’ensi yonna Alice Kamuhangi atadde balooya mu musango mu kattu bw’ategeezeza nti waakugenda mu maaso n’okuwulira obujulizi oludda olwaabi bwe lulina eri abakwate nga bw’ateekateeka ffayiro egenda okutwalibwa mu maaso g’abalamuzi 3 bawulire omusango mu bujjuvu.

Mu kkooti eno,omulamuzi omu asooka n’awulira obujulizi bw’oludda oluwaabi okukakasa oba busobola okuyimira mu maaso g’abalamuzi 3 olwo n’agusindikayo balooya batandike okuwooza.

Omulamuzi Komuhangi yawadde olwa March 6,okudamu okuwulira omusango guno oluvannyuma lw’ababaka obutabaawo mu kkooti ku Mmande e Kololo.

Akalippo okutaasa be basiba ne Ssegirinya.

Wabula ensonda zitegeezezza nti ekibalo kya bagoba kutaasa abasibe abali ku ffayiro abavunaanwa  n’ababaka abakyali mu kkomera  okuli;Jackson  Kanyike nabalala nabo bafune okweyimirirwa ng’ababaka.

Looya ategeezezza nti ekibalo kiri  nti bwe bateeka omusango mu kkooti  etaputa Ssemateeka,bagenda mu bwangu okuteekayo okusaba kkooti etaputa Ssemateeka eyimirize kkooti enkulu okugenda mu maaso n’okuwulira omusango gw’ababaka nga kino kigenda kuyamba balooya babasibe abalala abakulemberwamu Geoffrey turyamusima nabo okusabira abantu baabwe okweyimirirwa nga beesigama ku nsonga ntintekimanyidwa lunaku lutuufu kkooti ya Ssemateeka lw’egenda  kuwulira kwemulugunya kwe batutteyo.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top
// Infinite Scroll $('.infinite-content').infinitescroll({ navSelector: ".nav-links", nextSelector: ".nav-links a:first", itemSelector: ".infinite-post", loading: { msgText: "Loading more posts...", finishedMsg: "Sorry, no more posts" }, errorCallback: function(){ $(".inf-more-but").css("display", "none") } }); $(window).unbind('.infscr'); $(".inf-more-but").click(function(){ $('.infinite-content').infinitescroll('retrieve'); return false; }); if ($('.nav-links a').length) { $('.inf-more-but').css('display','inline-block'); } else { $('.inf-more-but').css('display','none'); } // The slider being synced must be initialized first $('.post-gallery-bot').flexslider({ animation: "slide", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, itemWidth: 80, itemMargin: 10, asNavFor: '.post-gallery-top' }); $('.post-gallery-top').flexslider({ animation: "fade", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, prevText: "<", nextText: ">", sync: ".post-gallery-bot" }); });