Ebyobufuzi

Ebya Ssegirinya ne Ssewanyana M7 abitaddemu kifiiriza

Ebya Ssegirinya ne Ssewanyana M7 abitaddemu kifiiriza

Bannakibiina kya NUP ne opozisoni okutwaliza awamu batandise okwekolamu omulimu okulaba nti bafulula Pulezidenti Museveni alabika ng’ayagala kulemeza ababaka Ssegirinya Muhammed ne Allan Ssewanyana mu kkomera.

Kino kiddiridde Ssegirinya (Kawempe North) ne Ssewanyana ‘(Makindye East) okuggulwako emisango egy’obutemu, obutujju n’okugezaako okutta abantu mu bitundu by’e Masaka.

Bano bombi baakwatibwa gye buvuddeko gavumenti n’ekibassaako nti be bamu ku baali emabega w’ettemu ly’ebijambiya omwafiiridde abantu 30.

Ababaka bombi baakomezebwawo leero ku mmande mu kkooti e Masaka era bannamateeka baabwe okuli loodimeeya wa Kampala, ssaalongo Erias Lukwago, Hon. Malende n’abalala baalayidde okudda nabo.

Ku lwokutaano kkooti yazzeemu okulemesa eby’okweyimirira ababaka bano wadde nga bali mu mbeera embi olw’ebigambibwa nti baatulugunyizibwa mu kukwatibwa n’embeera y’ekkomera enzibu.

Wabula waliwo ebigambibwa nti Pulezidenti Museveni ne NRM balina omupango gw’okukozesa kifiiriza ku babaka bano abalabika nti babadde ku gulawundi mu bitundu byabwe n’okukuumira ekibiina kya NUP ku bunkenke n’okutya.

Ebintu era kigambibwa nti birimu n’okufiiriza ababaka bano emirimu gyabwe mu Palamenti ne ssente nti ate singa n’etteeka Pulezidenti ne kabineti lye bakkaanyizaako ery’obuteeyimirira bantu bavunaanibwa misango gya butemu libakwatirayo babeera basobola n’okufiirwa ebifo byabwe.

Omu ku balooya era omubaka akiikirira Mukono North mu palamenti Kiwanuka Abudalh Mulimamayuuni yagambye nti okukwatibwa kwa banne kubakosezza nnyo nti kyokka kati ekisinga mu byonna kulaba nga bafuna eddembe lyabwe. Ono agamba nti “muby’enfuna, buli omu alina engeri gy’akikolamu naye nga nze nga puliida amaanyi agasinga obungi tugatadde mukulaba ng’abantu abo bafuluma era nga bafuna eddembe lyabwe ng’ababaka ba palamenti era basobole okufuna obujanjabi kuba bali mu mbeera mbi.”

Yagambye nti ebyennyingiza naddala okuva ku bukiiko, obusasula omubaka buli lw’atuula, ekyo kiri eri bukulembeze bwa palamenti obuvunaanyizibwa ku nsako, wabula gw’omusaala basigala bagufuna ate mu bujjuvu ng’ababaka ba palamenti.

Mulimamayuuni yagambye nti okukwatibwa kw’ababaka bano kulaze nnyo obwerere bwa pulezidenti Museveni ne gavumenti ye, kuba yagamba nti azze kulwanirira enkola eya ssemateeka n’okuzzawo enfuga y’amateeka, naye ate y’omu kubatiisatiisa kkooti ku nsonga za beyir, nga kati abantu baffe bangi bongedde okutya okwenyigira mu lutalo olwokuggyako nakyemalira nga bagamba nti olaba ababaka Ssewannyana ne Ssegirinya balemedde mu kkomera, olwo bbo abataliiko agamba.

Ono era yalaze okutya nti okulemesa ababaka bano mu kkomera kandiba akakodyo ka gavumenti ak’okwagala okubasiguukulula mu palamenti nga bakozesa ssemateeka agamba nti singa omubaka amala emyezi egisukka omukaaga nga takiika mu palamenti, ekifo ekyo kirangirirwa nti kikalu era w’aba walina okuddamu okutegeka okulonda mu bwangu.

Naye bino byonna bibaawo singa omusibe abeera teyategeezezza si’piika ku bizibu by’alimu era omusibe ayinza okuyita mu Nampala w’oludda oluvuganya gavumenti n’awandiikira sipiika ng’amutegeeza embeera gy’alimu, olwo eby’okulangirira ekifo nti kikalu nebitakolebwa.

Okusinziira ku mateeka n’enkola ya Palamenti ya Uganda, buli mubaka alina okufuna omusaala gwa bukadde 25, emmotoka ya bukadde 200 nga yakatuuka mu Palamenti, obukadde 4 n’emitwo 50 ez’okwebeezaawo buli mwezi, waliwo 1,000,000 okumuyambako mu Kampala buli mwezi, endala 500,000 za bujanjabi buli mwezi, gattako 50,000 buli lw’atuula mu bukiiko bwa palamenti.

Waliwo endala emitwalo 15 buli kutuula mu Palamenti eya bonna n’ez’amafuta nga zino zisinziira ku wa omubaka gy’ava.

Ensako endala ya mitwalo 15 buli kiro singa abeera atumiddwa ku semina oba Omusomo, omulimu omulala mu ggwanga ate bw’abeera bweru walyo bamuwa 2,000,000/= buli lunaku.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top