Ebyobufuzi

Ekiri mu ddwaniro e Congo

Ekiri mu ddwaniro e Congo

Abayeekera ba ADF bangi basuddewo ebyokulwanyisa ne badduma, abalala beekukumye mu banoonyi bobubudamo,abalala beeyongeddeyo munda mu bibira ebikutte enkompe kyokka bannabwe ntoko battiddwa era emirambo tegiriiko aziika.

Okusinziira ku bannansi ba Congo DRC  ku kyalo Mukakati mu pulovinsi ye North Kivu abakulembeddwa Gilbert Koite, batutegeezezza nti ekiri ewabwe kifumbamutuku.

Ono ne banne bategeezezza abasasi baffe nti emmundu eyasumuluddwa amagye ga UPDF okuva wiiki ewedde ebadde terabwako e Congo nti katono egyemu nabakazi embuto.

Abacongo bategeezezza nti balinga abali mu firimu okulaba ennyonyi nagammotoka agalwanyi agekulumulula nokuwandagaza bbomu ku nfo zomulabe nti abayeekera bangi abatiddwa okusinziira ku bannabwe abakwatagana nabebyokwerinda.

Bino byonna bidiridde Uganda okwekyawa nesindika amagye e Congo DRC bwe yalangiridde olutalo okukuba abayeekera ba ADF abaabadde beekukumye mu ggwanga eryo.

Wiiki ewedde olupapula lwa ssekanolya akuleetera ebiri ewala lwe lwasoose okutegeeza nga Pulezidenti Museveni bwe y’abadde alagidde amagyege okulumba Congo DRC emmundu etokote.

Mu lukiiko ne bakomanda be mu high command, Museveni nga yeemuduumizi olwokuntikko yagambye nti ADF teyinza kutta Bannayuganda nabacongo bwenkanidde awo nti bagilumbe e Congo DRC zivuge.

Amangu nembiro, Uganda yayungudde abawanvu nabampi abaduumirwa Maj Gen Kayanja Muhanga ng’ono alina oluganda ku munnanawulire Andrew Mwenda ne minisita Muhanga Margaret okukulira ekikwekweto kino ekyatuumiddwa operation shujja.

Ensonda mu byokwerinda zaategeezezza nti ekibinja ekyalumbye Congo DRC mulimu amagye agokutakka  aga mukono mukono, aba special forces, abebimmotoka Bya mmamba ebirwanyi, eggye eryomubbanga eryayungudde ennyonyi za sukoi, ekibinja kyemizinga eminene ne ttanka n’abalala.

Muhanga yategeezezza ngasinziiy e North Kivu gyeyakubye ekitebe waduumirira olutalo nti entandikwa ennungi etandikiddewo okusattulula ADF.

Amagye ga UPDF gakuba omulabe mu pulovinsi ye North ne Ituri nga gakozesa ennyonyi ennwanyi, ebimmotoka ne ttanka n’emizinga giseruboggola.

UPDF yategeezezza nti waliwo enkambi za ADF e Yuyonga, Tondoli, Beni one ne  Beni two ezasanyiziddwawo ate ngemmundu ekyakekera.

Ensonda zigamba nti abayeekera abasoba mu 2000 nga mulimu abaana abato, abakazi basajja batiddwa era emirambo tegiriiko baziika abalala bbomu zaabokeza bubi nnyo.

Abaana nabakazi kirowoozebwa nti babadde bawambibwa ADF okuva e Congo ne Uganda namawanga amalala okwegatta ku buyeekera ku kifuba.

ADF eyatandika mu myaka gya 1990 ennaku ezo yeegasse ku ISIS era neyongera okukola obulumbaganyi e uganda ne Congo omuli ne bbomu ezasembyeyo okubwatukira mu Kampala ne bbaasi ku lwe Masaka.

ADF yakatta abantu abasoba mu 147 mu Uganda wakati wa 2003 ne 2021ate  besse e Congo gyeyasensera mu 2007 basoba mu 8000.

Waliwo buvidiyo nebifanaanyi ebitandise okuwerezebwa ku mikutu gya social media nga giraga aba ADF mu kutendekebwa, nga batirimbula abantu bebasalako emitwe ngembuzi, nga bookezza ebyalo nebirala ngeyali komanda wabwe Kati omukwate, Jamil Mukulu abafarasira.

Tekimanyiddwa ani abifulumya mu kiseera kino nekigendererwakye.

Bbo Abazungu nekibiina kyamawanga amagatte ekirwanira ku ludda lwamagye ga Congo DRC okukuuma emirembe olwebikolwa by’obuyeekera mu ggwanga eryo balabudde uganda n’amagye ga Congo obutatta Bantu babulijjo nokunyagulula oba okusobya ku bakazi wabula bakole ekyabatutteyo.

Ekibiina kya Amnesty International nakyo kyalabudde Uganda okukuuma abantu babulijjo, amateeka golutalo nebigenderako nti tebadda mu kunenengana nga bwe gwali mu myaka gya 2000 Uganda ne Rwanda bwe balwanira e Kisangaani.

Ate minisita wamawanga agomuliraano Henry Okello Oryem yategeezezza eggwanga ngasinziira ku NTV nti amawanga agomuliraano nga Tanzania, Kenya namalala gawagidde Uganda ku lutalo luno, nti Rwanda yabayitiddemu wadde bakyesirikidde ne Palamenti ya EALA gawagidde Uganda.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top