Amawulire

Enkuba esse 2 e Mukono.

Abantu babiri baakubiddwa ebikomera ne bafa mu nkuba eyafudembye mu kiro ekyakeesezza lwokusatu mu bitundu ebyenjawulo, okwonoona ebintu n’okusannyalaza entambula.


E Mukono enkuba yasudde ekikomera kya kkampuni enkola enguudo eya Abubaker Technical Services mu Kigombya mu kibuga Mukono n’ekikuba omukuumi ne kimutta.


Bashir Irima yafudde era omulambo gwe gwaggyiddwaawo poliisi y’e Mukono ne gutwalibwa mu ggwanika e Mulago.

Ate omuyizi w’essomero lya Ndejje SS Luweero, Tonny Kayondo 15, yakubiddwa ekikomera kya muliraanwa waabwe, Hope
Butayi n’afa nga kino kyagwiridde ekisenge mw’abadde asula. Ekikangabwa kino kyabadde mu Kanyanya zzooni e Ndejje mu Makindye Ssaabagabo mu disitulikiti
y’e Wakiso.


Maama w’omugenzi Margret Namalwa yagambye nti, baludde nga beemulugunya ku kikomera kino kyokka nga nnannyini kyo tafaayo. Yagambye nti wadde omwanawe
yafudde ayagala Butayi azzeewo ennyumba ye eyakubiddwa ekikomera.
Enkuba era yabomodde olutindo ku mugga e Mukono abatuuze lwe beezimbira nga
bayambibwako omubaka waabwe, Betty Nambooze. Olutindo luno lusangibwa ku kyalo Lweze, era ssentebe w’ekyalo kino, Joachim Ssendi, yategeezezza nti, abatuuze beekolamu omulimu ne baluzimba oluvannyuma lw’okumala emyezi ebiri nga luguddemu ne wabulawo abayamba okuluddaabiriza.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top