Amawulire

Essomero ligaddwa oluvanyuma lw’omuliro ogwakutte ekisulo ky’abayizi ba P7.

Manegimenti ya Kamuli Girls Primary School bakaanyiza essomero okuggalwawo olw’omuliro ogwakutte ekisulo ky’abayizi ba P7.

Ebintu byonna byayidde omuli ebitabo, engoye, emifaliso n’ebintu ebirala.

Ekisulo mwabaddemu abayizi abasukka mu 100 naye tewali mwana yenna yakoseddwa.

Abayizi bagamba nti ekizimbe okubaako emiryango nga mingi, y’emu ku nsonga lwaki baasobodde okudduka amangu.

Abamu ku bayizi bagamba nti omuliro gwatandikidde waggulu ku kizimbe.

Joseph Musoke, akulira ebyenjigiriza e Kamuli agamba nti mu lukiiko lw’abazadde, abasomesa ne Poliisi, bakaanyiza abayizi okuddayo awaka okumala akaseera akatono, Poliisi okusobola okunoonyereza ekivuddeko omuliro.

Musoke agamba nti abaana mu kiseera kino betaaga abazadde okubabudabuda.

Agamba nti essomero liyina okukola kyonna ekisoboka okulaga nga bateekawo embeera, abayizi okudda ku ssomero.

Michael Kasadha, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Busoga North agamba nti okunoonyereza kutandikiddewo.

Okunoonyereza ekyavuddeko omuliro kutandikiddewo.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top