Amawulire

Eyabba ssente za mukwano gwe,asibiddwa.

Eyajja ng’akaaba n’awanjagira mukwano gwe okumusuza oluvannyuma lwa muganzi we okumugoba awaka, yamwefuulira n’amubba obukadde 4 mu dduuka gye yali asuziddwa n’addukira ewaabwe e Kasese gye baamukwatira.

Kkooti egumusingisizza n’alagirwa okuliyirira gwe yabba okukadde 4 n’ekitundu oluvannyuma lw’omwezi gumu nga bw’alemererwa waakusibwa mu kkomera omwaka mulamba.

Bridget Muhindo 22, y’aweereddwa ekibonerezo ekyo mu kkooti ya Nateete- Rubaga e Mengo, omulamuzi Amon Mugezi bw’amusingisizza ogw’okubba obukadde 4 okuva ku Annet Nabbosa.

Kyakakasiddwa nti mu kiro kya December 23, e Kasubi mu Lubaga, Muhindo yagenda ewa mukwano gwe Nabbosa ng’akaaba n’amutegeeza nti yali agobeddwa awaka n’amusaba asuleko mu dduuka lye ekiro kimu era n’akkirizibwa.

Nabbosa yategeezezza nti enkeera yasanga Muhindo yagenze dda nga tamutegeezezaako wabula bwe yakebera gy’atereka ssente nga teziriiwo.

Omuwala ono akkiriza nga bwe yatwala ssente era n’asalirwa engassi ya bukadde 4 n’emitwalo 80 wabula asasule gwe yabba okukadde 4 n’ekitundu ezisigadde azisasule Gavumenti nga bwe kimulema waakusibwa mwaka e Luzira.

 

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top
// Infinite Scroll $('.infinite-content').infinitescroll({ navSelector: ".nav-links", nextSelector: ".nav-links a:first", itemSelector: ".infinite-post", loading: { msgText: "Loading more posts...", finishedMsg: "Sorry, no more posts" }, errorCallback: function(){ $(".inf-more-but").css("display", "none") } }); $(window).unbind('.infscr'); $(".inf-more-but").click(function(){ $('.infinite-content').infinitescroll('retrieve'); return false; }); if ($('.nav-links a').length) { $('.inf-more-but').css('display','inline-block'); } else { $('.inf-more-but').css('display','none'); } // The slider being synced must be initialized first $('.post-gallery-bot').flexslider({ animation: "slide", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, itemWidth: 80, itemMargin: 10, asNavFor: '.post-gallery-top' }); $('.post-gallery-top').flexslider({ animation: "fade", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, prevText: "<", nextText: ">", sync: ".post-gallery-bot" }); });