ebyamasanyu

EYAGYEWO ETEEKA LYOBWENZI ABIZADDE* Bakabasajja tebakyayambala mpale ebintu bamansa bimanse

EYAGYEWO ETEEKA LYOBWENZI ABIZADDE* Bakabasajja tebakyayambala mpale ebintu bamansa bimanse

Ebyokugyawo etteeka lyobwenzi ebyalangiriddwa omwogezi wa poliisi  Fred Enanga bitadde abantu ku bunkenke abakazi abafumbo bwe batandise okutambula nga tebambadde buwale bwamunda okusikiriza abasajja.

“Bukyanga bakyawa Enanga ku luno bamwagadde, abasajja babadde batulemesa naffe okwetaaya kati ngigabisa omutima gumu tewakyali musango, bba wange bwoyenda nga nange nfunayo” omukazi apangisa ku mayumba g’omugenzi Kagiri e Makindye ku madirisa bwe yalekaanye nga Fred Enanga yakalabula abaserikale ba poliisi tebaddamu kukwata bakazi bafumbo ne bwebabasanga mu kikolwa nabasajja abatali baami babwe.

Kyokka ebyayogeddwa omukazi we Makindye byebiri ku mimwa gyabakazi abasinga obungi era abasajja bangi bali mu kutya olwobutamanya ngeri gyebagenda kukuumamu bakazi babwe.

Fred Mubiru omutuuze we Nateete mu Kigagga zooni yategeezezza omuwandiisi Ono nti, ” Gavumenti ereese obuzibu okugyawo etteeka ku bwenzi kubanga Kati abantu bagenda kutwalira mateeka mungalo bwenkusanga ku.mukazi wange nkuttirawo” Ate bbo abasajja abenzi bali mu kujaguza nga bagamba nti Kati Gavumenti ya NRM tebakyagirinako buzibu nti bagenda kukwana buli.kiramu kasita kibeerako amabeere kubanga babagye ku muggalo gwabakabasajja.

Ebigambo bya Enanga bidiridde kkooti mu 2007 okugyawo etteeka ku bwenzi abakazi bwe beekubira enduulu nti etteeka eryaliwo lyali libanyigiriza nga lyogera ku bakazi bokka okubakwatira mu bwenzi kyokka nga ku basajja terinyega ye omusajja asangiddwa mu bwenzi ne bwabeera mufumbo. Kkooti yategeeza nti etteeka ku kukwatira omuntu mu bwenzi lyali teririna makulu neriwera nti nekibonerezo ekya shs 600 ezawebwanga asingisiddwa ogwobwenzi tezaalimu makulu.

Okusooka Enanga yalabudde nti wadde mukaziwo omusajja omukozesaako eddakika nga 30 oba essaawa nga ziizo simusango Kyokka ggwe nyini mukazi osobola okuvunaana omusiguze okuwamba mukazi wo namukozesa obuseegu singa amalayo mu bwenzi ennaku eziwera.

Omusajja asse abaana 2 abomusajja gwasanze aganzise mukaziwe mu lusuku. Oluvanyuma lwokugyawo etteeka ku bwenzi abasay abamu batandise okutambula namajambiya amawagale okukuuma abakazi . Ono omusajja eyajjula ebuba poliisi etandise okumuyigga lwa kutematema baana ba mulirwanawe babiri nabatta bwe yamutebereza okumwagalira omukyala.

Edward Birungi, 40, omutuuze w’e   Kagarama cell mu muluka gw’e  Nyarutojo mu ssaza kye  Kambuga, okumpi ne Kanungu  yeeyasse abaana  Tracy Nabasa 8 ne   Ian Owembabazi 3 ngalumiriza nti kitaabwe  Kato Frank asusse okumwagalira omukazi.

Ono yali yalalika  dda okutema Kato gwagamba nti yamulebgedde ngaganzise mukaziwe mu lusuku wabula ne badduka essungu yalimalidde ku baana.

Omwogezi wa poliisi mu kitundu kino , Elly Maate, yagambye nti ssentebe wa LC , Augustine Mutabazi yeeyababuulidde ebyabaddewo nagamba nti omutemu yadduse kyokka bamuyigga ku fayiro nnamba  CRB 110/2022.

Hon Latif Ssebaggala essaawa yonna omutwe mmye lwa mukazi. Ate eyaliko omubaka wa Kawempe North mu Palamenti Hon Latif Ssebaggala atambulira mu kutya oluvanyuma lwomusajja atayogera manyage okumulalika okumutta bwatakomya kubojerera mukaziwe.

Omusajja Ono yatimbye ebipande.ku miti.e Kawempe ngalabula Ssebaggala nti asusse kubanga abakazi baalina mu  Kawempe bangi.nti.naye ate alemedde ku mukaziwe.

” Nkuwadde ennaku bbiri twogere oba ofe . Omanyi  ewange gyensula emanju wessomero Lya Taibah era omanyi naye nviira ku mukazi” ono bwe yawandiise.

Kyokka Ssebaggala y’abadde tanafunika kitegeeza oba ensonga ezo y’abadde azimanyiko nakiki kyategese okukola okutaasa omutwe gw’e.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top
// Infinite Scroll $('.infinite-content').infinitescroll({ navSelector: ".nav-links", nextSelector: ".nav-links a:first", itemSelector: ".infinite-post", loading: { msgText: "Loading more posts...", finishedMsg: "Sorry, no more posts" }, errorCallback: function(){ $(".inf-more-but").css("display", "none") } }); $(window).unbind('.infscr'); $(".inf-more-but").click(function(){ $('.infinite-content').infinitescroll('retrieve'); return false; }); if ($('.nav-links a').length) { $('.inf-more-but').css('display','inline-block'); } else { $('.inf-more-but').css('display','none'); } // The slider being synced must be initialized first $('.post-gallery-bot').flexslider({ animation: "slide", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, itemWidth: 80, itemMargin: 10, asNavFor: '.post-gallery-top' }); $('.post-gallery-top').flexslider({ animation: "fade", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, prevText: "<", nextText: ">", sync: ".post-gallery-bot" }); });