Amawulire

Eyali besiti¬maani yedizza omugole .

Omuko Dan Kavuma Ssekidde, amaze ebbanga nga yeewuuba ew’abakulu abazaala eyali mukazi we ng’abanja ebintu, w’osomera bino ng’ali ku kitanda mu ddwaa­liro e Kasangati.

Kavuma agamba nti, yalumbid­dwa ekirwadde mu lubuto bwe yabadde mu kkomera ku poliisi y’e Katwe gye yaggaliddwa ku Lwokuna lwa wiiki ewedde.

Okuggalirwa ku poliisi, Kavuma yabadde azzeeyo mu maka ga ssezaala we, Gerald Makumbi e Kabowa okubanja ebintu bye era yagenze n’engugu ye omwabadde essuuka, omukeeka, essigiri, amanda, omuceere n’ennyama ng’agamba nti tavaawo okutuusa nga bamuwadde ebintu bye.

Poliisi y’e Kabowa ye yazze n’emuggyawo wabula abatuuze ne bagirumba nga baagala emute, kwe kumwongerayo e Katwe.

Mu kiseera kino Kavuma Ssekidde ajjambabibwa mu ddwaaliro lya Jennita Medical Centre e Kasan­gati ku luguudo lw’e Gayaza.

Yagambye nti abasawo baamuzud­demu yinfekisoni ez’omutawaana era alumizibwa olubuto ssaako embiro ezitasalako.

Yagambye nti obuzibu buno bwatandikira mu kaduukulu e Katwe oluvannyuma lw’okulya emmere ng’okuva olwo olubuto terutereeranga.

Ssekidde yayimbulwa ku Lwomukaaga ku kakalu ka poliisi oluvannyuma olw’okukkiriziganya ne ffamire ya Nalule okuggyayo emisango gye yali yamuggulako ne Ssenabulya ng’abavunaana okuyingira mu bufumbo obulala ate nga bakyali mu bw’empeta.

Wiiki eno bano basuubirwa okuddamu okusisinkana okusala­wo eky’enkomeredde ku nsonga zino n’okuggalawo ffayiro zombi mu butongole.

Kavuma yagattibwa ne Nalule mu bufumbo obutukuvu mu November wa 2015, mu Lutikko e Lubaga oluvannyuma lw’omukolo gw’okwanjula.

Gye buvuddeko Nalule yayanjudde eyali besiti­maani waabwe ku mbaga, William Ssennabulya ekyatabula Kavuma n’atandika okubanja bazadde ba Nalule ebintu bye.

 

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top