Amawulire

Gavumenti eweze eky’abasajja okuddamu okusiba enviiri.

Abakulembeze mu bitundu bye Zanzibar nga begatiddwako ekitongole ekya Poliisi, batandise ekikwekweeto eky’okunoonya abasajja bonna abasibye enviiri bakwatibwe.

Abakulembeze, bagamba nti bakooye eky’okutyoboola obuwangwa ng’abakyala bokka, bebalina okusiba enviiri.

Akulira ensonga z’obuwangwa mu Zanzibar Omar Adam, agamba nti abasajja okweyongera okusiba enviiri, kiteeka eggwanga mu katyabaga eri abaana abato.

Agamba nti eky’okusiba enviiri kyava mu nsi z’ebweru, nga balina okukirwanyisa, abantu okuddamu empisa.

Mungeri y’emu awakanyiza ebigambibwa nti eky’okusiba abasajja abasiba enviiri, kigendereddwamu okutigomya abasajja abagambibwa nti baludde nga benyigira mu kulya ebisiyaga.

Mu Zanzibar, etteeka eritangira abasajja okusiba enviiri lyayisibwa mu 2015 era kati baliteeka mu nkola.

Singa omuntu yenna akwatibwa nga yasiba enviiri, alina okuwa fayini ddola 400 (ssente 1,452,892) oba okusindikibwa mu kkomera emyezi 6 oba byombi.

Mu tteeka, omuntu yenna okusiba enviiri, alina okufuna Pamiti ya Gavumenti ku ssente miriyoni 1 eya Tanzania (ssente 1,509,494)

Mu sabiiti 2 eziyise, Gavumenti ya Zanzibar yawera ebitabo 16 mu ggwanga lyonna nti byali bikozesebwa mu kusasaanya obuseegu.

Wabula bangi ku bannansi, bagamba nti okubalemesa okusiba enviiri, kigendereddwamu okutyoboola eddembe lyabwe.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top