Amawulire

Eyafumbidde ebijjanjaalo mu nnyumba basanze afudde.

Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo Kagoma mu ggombolola y’e Nabweru mu Nansana Munusipaali oluvannyuma lw’okusanga omuwala ng’afiiridde mu kazigo mw’abadde asula.

Afudde ye Grace Akello 22 ng’abadde akola mu wooteeri e Kagoma.

Ono kigambibwa nti ekiro ekikeesezza leero yataddeko ebijjanjalo ne yeebaka, ng’abatuuze bamusanze ku mulyango nga kiraga nti yabadde agezaako okwerwanako afulume kyokka n’alemererwa.

Baasanze nga feesi yonna yayidde oluvannyuma ly’okugwa mu sepiki y’ebijjanjalo eyabadde ku sigiri.

Meeya w’e ggombolola y’e Nabweru, Jumba Kasim yasabye abatuuze okwewala okufumbiranga mu nnyumba kuba kya bulabe nga bangi bafiriiddwa obulamu bwabwe.

Oluvannyuma poliisi etutte omulambo gwe mu ggwanika ly’eddwaliro e Mulago, abasawo bagende mu maaso n’okugwekebejja.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top
// Infinite Scroll $('.infinite-content').infinitescroll({ navSelector: ".nav-links", nextSelector: ".nav-links a:first", itemSelector: ".infinite-post", loading: { msgText: "Loading more posts...", finishedMsg: "Sorry, no more posts" }, errorCallback: function(){ $(".inf-more-but").css("display", "none") } }); $(window).unbind('.infscr'); $(".inf-more-but").click(function(){ $('.infinite-content').infinitescroll('retrieve'); return false; }); if ($('.nav-links a').length) { $('.inf-more-but').css('display','inline-block'); } else { $('.inf-more-but').css('display','none'); } // The slider being synced must be initialized first $('.post-gallery-bot').flexslider({ animation: "slide", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, itemWidth: 80, itemMargin: 10, asNavFor: '.post-gallery-top' }); $('.post-gallery-top').flexslider({ animation: "fade", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, prevText: "<", nextText: ">", sync: ".post-gallery-bot" }); });