Amawulire

Government etandise enteekateeka y’okweddiza amasanyalaze ga Uganda gonna.

Okutandika n’embalirira y’omwaka gw’ensimbi 2023/2024 , government eteeseteese okutandika okweddiza omulimu gw’okuddukanya emirimu ekikwata ku masanyalaze gyonna.

Mu nteekateeka eno, government era yakweddiza obuvunanyizibwa bw’okuddukanya amabibiro g’amasanyalaze okuli erya Nalubaale ne Kiira.

 

 Mu kiseera kino amabibiro gano gaddukanyizibwa kampuni ya south Africa eya Eskom, era endagaano yaayo ne government yakuno egwako omwaka guno 2023, so nga eya UMEME ey’okugasaasaanya egwako mwaka gwa 2025.

Government ng’eyita mu mbalirira yaayo ey’omwaka gw’ebyensimbi 2023/2024 eyakabagibwa, yalaze nti ekitongole ky’eggwanga ki Uganda electricity Generation Company Limited kyekigenda okweddiza obuvunanyizibwa bwokuddukanya amabibiro gano.

Wabula yadde omutemwa gwensimbi ezisuubirwa okusaasaanyizibwa okugula endagaano ya Kampuni ya Eskom gavunent okweddiza amabibiro gano Nalubaale ne Kiira, ebiwandiiko ebize birabwaako biraga nti gavunent yandisaasaanya obukadde bwa doola za America  85 bwe buwumbi nga 300 obwa Uganda

Mu mbalirira yomwaka guno ogugenda mu maaso 2022/2023 government yali etaddemu obuwumbi bw’ensimbi 45,okugula endagaano ya Kampuni ya Eskom.

 

Parliament yalagira kalondoozi w’ebitabo bya government John Muwanga okusooka okubalirira byonna ebikwata ku mbalirira eno, ng’ensimbi ezo tezinayisibwa.

Mu mbeera yeemu mu mwaka gw’ebyensimbi 2023/2024 government yakutandika okuteekateeka ekitongole kyayo ki Uganda Electricity distribution company limited UDCL, nga yetegekera okweddiza emirimu gya UMEME.

Ku nkomerero y’omwaka oguwedde 2022, government mu butongole yawandiikira kampuni ya Umeme neegitegeeza nti endagaano yaayo ssi yakuzibwa bugya mu mwaka 2025 singa enaaba eweddeko.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top