Amawulire

Kasasiro n’okuzimba mu makubo bibasibyeko  amataba.

Mu Kawempe balaze ebiremezza amataba mu kitundu kyabwe ekivuddeko ebintu okwonooneka mu nkuba. Kawempe mulimu emiruka 22 n’ebyalo 119 kyokka byonna birina ekizibu ky’amazzi kye kimu. Abatuuze baategeezezza nti, bamaze emyaka nga
batawaanyizibwa amazzi aganjaalira mu mayumba gaabwe.

Emyala eminene egy’omu Kawempe kuliko; ogwa Katanga, Nakamiro, Nsooba – Kyebando, Kiyanja ng’egimu ku gino giri mu mbeera mbi ng’enkuba bw’etonnya amazzi tegasobola kutambula.

Jane Namatavu yagambye nti, abakulembeze tebadda kumanya bizibu by’abantu nga kasasiro takyayoolwa. Yagasseko nti ekisibye amataba mu Kawempe abantu abasinga baazimba mu makubo.

Mmeeya w’e Kawempe, Dr. Emmanuel Sserunjogi yagambye nti, n’abatuuze balina okukomya okusuula kasasiro mu myala kubanga agizibikira.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top