Amawulire

Mmotoka yalinnye eyabadde agenze okulaba kadongokamu n’afiirawo.

Abatuuze ku kyalo Bbeta mu ggombolola y’e Mugoye, mu  disitulikiti y’e Kalangala bakubiddwa encukwe olw’okusanga mutuuze munaabwe ategeerekeseeko nga Peace Nambuusi 47, ng’afiiridde ku mabbali g’ekkubo.

Kitegeerekese nti omugenzi yalinnyiddwa mmotoka etannategeerekeka era n’emubetenta omutwe ku makya g’olunaku olw’eggulo ku  saawa nga 11:00 era n’emala n’ebulawo.

Okusinziira ku Ruth Nantongo, muwala w’omugenzi, nnyaabwe yabadde agenzeeko mu kadongokamu okusanyukamu. Ayongerako nti yanyweddemu n’atamiira kyokka kyababuuseeko okubakubira ku makya nti nnyaabwe asangiddwa ku kkubo ng’afudde.

“Tuteebereza nti mmotoka esomba butto ye yamulinye ng’eva mu paakingi kubanga ye yasoose okuvaawo ate omulambo gwe tugusanze kumpi ne we zipaakinga,” Nantongo bwe yayongeddeko.

John Kayima Muzeeyi, ssentebe w’eggombola y’e Mugoye yasabye aba UNRA okuteeka obugulumu mu bubuga obuli ku luguudo oluva e Bugoma okudda e Kalangala kiyambe okukendeeza ku bubenje obweyongedde.

“Olw’obutabaawo bugulumu buno, mmotoka zidduka nnyo naddala nga zigoba ferry ekiretedde obubenje omuli obwa Bodaboda n’e motoka okweyongera kyokka nga oluguudo bakamala okuluddabiriza,” Kayima bwayongeddeko.

Poliisi y’ebidduka e Kalangala ekakasiza akabenje kano era n’e bategeeza nga bwe bakyanonyereza nga mu kiseera kino waliwo emmotoka ekuumirwa ku kitebe kya Kalangala Central Police Station abatuuze gye bateebereza okwenyigira mu kabenje kano.

 

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top