Amawulire

Kenzo obusungu abumalidde ku Cindy ne Big Eye.

Kenzo ekiruyi ky’ebizibu ebiri mu kibiina kye akimalidde ku bayimbi banne, Cindy Ssanyu ne Big Eye abadduse olukiiko olw’ebbugumu olwabadde lutegekeddwa okulung’amya ekibiina kye.

Olukiiko olwabaddemu olutalo lwayitiddwa ekibiina kya UNCC ekikulembera abayimbi n’ebibiina byabwe okulung’amya ku butakkaanya wakati w’ekibiina kya Uganda National Musicians Federation (UNMF) ekikulemberwa Eddy Kenzo n’ekya UMA ekikulemberwa Cindy.

Cindy agamba nti ekibiina kye kirimu bammemba abasukka 4,500 okwetooloola eggwanga kyokka nti Kenzo ayagala kye kiba kyegatta ku kikye ekitaweza ‘Association’.

Cindy agattako nti, Kenzo talina kibiina/association gye yatandikawo ne z’ayagala okukulembera mu Federation, baagala kuzitandikawo mu kupapirira ate mu kuzikung’aanya amangu, ayagala kusattulula UMA akolemu ‘associations’ endala afune bw’abakulemberera mu federation.

Big Eye nga naye mukulembeze mu UMA ekulemberwa Cindy agamba nti, baabadde bakkakkamu okutuusa embeera lwe yasajjuse nga Kenzo ne banne abali mu UNMF batandise okuteekawo ‘ezzalawo’ ekitegeeza okulengezza kye baagaanye, ate bwe baabawakanyizza nti bye bakola bikyamu, kwe kubeesimbamu okwagala okubakuba.

“Kenzo ne banne baakola ekintu kyabwe, baagala kukivuga nga bwe baagala kyokka ng’ate federation tebeera ya muntu nti y’alina okusalawo.

Olukiiko lwabaddemu abakulira association endala era omulamwa gwabadde gwa kuzigatta kyokka ate nga tebatukkiriza kuteesa baagala tukkirize bye bagamba n’okutemaatema mu UMA obulere nga baagala kukolemu bu associations obulala.

Twabuuzizza nti bwe baba baagala twegatte tubeere n’eddoboozi limu, UMA esangiddwaawo, tukkaanye mutuwulirize muleme kugitemaatemamu,” Big Eye bwe yategeezezza n’agattako nti, bwe baabawakanyizza kwe kugezaako okubakuba.

“Bazze bankube lwakuba nange nsobola okwerwanako era amagye ge gaataasizza kubanga gaayiise mangu,” Big Eye bwe yayogedde.

Kyokka omuyimbi Bruno K nga ye muwagizi wa kibiina kya Kenzo era nga yakoze ne association etwala ab’e Mukono, yategeezezza nti Big Eye ye yeecwacwanye bwe yabadde awulira ng’ebyogerwa tabiwagira n’asituka ayambalagane ne Kenzo ne bamukwata era awo olutalo lw’ebigambo we lwatandikidde.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top
// Infinite Scroll $('.infinite-content').infinitescroll({ navSelector: ".nav-links", nextSelector: ".nav-links a:first", itemSelector: ".infinite-post", loading: { msgText: "Loading more posts...", finishedMsg: "Sorry, no more posts" }, errorCallback: function(){ $(".inf-more-but").css("display", "none") } }); $(window).unbind('.infscr'); $(".inf-more-but").click(function(){ $('.infinite-content').infinitescroll('retrieve'); return false; }); if ($('.nav-links a').length) { $('.inf-more-but').css('display','inline-block'); } else { $('.inf-more-but').css('display','none'); } // The slider being synced must be initialized first $('.post-gallery-bot').flexslider({ animation: "slide", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, itemWidth: 80, itemMargin: 10, asNavFor: '.post-gallery-top' }); $('.post-gallery-top').flexslider({ animation: "fade", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, prevText: "<", nextText: ">", sync: ".post-gallery-bot" }); });