Amawulire

KIRUNDA FARUK -Twagale Nnyo Ensi Yaffe

KIRUNDA FARUK -Twagale Nnyo Ensi Yaffe
PULEZIDENTI: Yoweri Kaguta Museveni bw’abeera ayogerako eri bannayuganda enfunda ezisinga abakubiriza n’okubera n’omwoyo gweggwanga ekitegezza nti balina okwagala egwanga lyabwe nga bwebeyagala nga nebwekiba kyetagisa kulifililira balina okukikola kyenkakasa nti esuubi likyaliwo okuzzamu bannayuganda omutima ogwokwagala ennyo ensi yabwe. Bwenalabye obutambi ku mikutu gya internet nga abaana okuva mumasomero nga sseke secondary school erisangibwa E LWENGO district, Bweranyangi girls senior secondary school e Bushenyi, St. johns senior secondary school e lyantonde kitebi senior secondary school kampala . nga batendekebwa okubera ne mwoyo gwaggwanga nkimanyi nti abaana bano bwebanamaliriza okutendekebwa tebajja kusigala kyekimu. Enfuunda nnyingi nga pulezidenti Museveni akubiriza bannayuganda okwagala nnyo ensi yaabwe kubanga akimanyi nti ssinga bannayuganda bonna baagala eggwanga lyabwe ffenna tuba tugenda kukulakulanira wamu wabula ekizibu ekinene kwekubeera mugwanga nga bannansi abasinga nga tebalina bwagazi eri gwanga lyabwe nga buli kasseri babera mukuvumilira n’ebitukiddwako
OMWOYO GW’EGGWANGA TEGUSOSOLA:
Mwoyo gwagwanga tasosola mubantu omuli kabira zaabwe, eddini ze basoma oba langi. Uganda ngazi ekimala ffenna bannayuganda okugyamu era singa tukolagana nga basseruganda nga tuyambagana Uganda egenda kutunyumira nyo nga enkulakulana yeyongera . ekyeenaku tukyalina abantu abakyalowolereza mubakubira kbiri n’amawanga gabwe mukifo kyayuganda eyamwamu.
Okusosolagana mukabira kirwadde kyamutawanna nyo osobola kukigerageranya ku kkansa wadde ate nga kyangu nyo okulowoolereza mu buntu obutonotono obuyamba kabirazabwe mukifo kyekinene ekyayuganda.
LWAKI M7 OBULULU ABWEZA LWEYO
Embeera eno yeyambye pulezidenti Museveni okuwangula obululu bwonna bw’azze awangula nga yeesimbyewo muyuganda nga talowolereza mubantu bankole gyazalwa wabula mu yuganda eyamu banne abamuvuganya ekibalemye okutegera lwaki bannayuganda baganye okubeesiga n’obukulembeeze bwegwanga kwekubeera nti bobalowolereza mu kabira ate ng’ekigendererwa ekikulu kugatta bannayuganda ewamu okusobola okumalawo embeera eyalekwawo abangereza abafuzi bamatwale abakutulakutulamu bannayuganda okusinzira kukabira zaabwe
AMAGEZI GEMPA ABASOSOLA MU MAWANGA
Mbakakasa nti bwebatekuba mumitima nebakiriza nti yuganda ekyuuse bannayuganda bagala Uganda eyamu era embeera yeegenda okubakaka okukyuka bave mubikolwa ebyobutabeera n’amwoyo gwagwanga nga benyigira mubikolwa nga mubuli bwenguzi , okwekalakasa, neboonoona ebintu byagavumenti ababaka bagavumenti okugenda mupalamenti nebateka emikono mubitabo nebafuna sente ate nga tebatesereza balonzi babwe, abasawo abalya omusala gwagavumenti nga tebajanjaba balwadde, abasomese abalya omusala gwagavumenti nga tebasomeseza baana, obutemu okweyongera mugwanga n’ebikolwa eby’eko ebigwa mukowe nga eryo.ebyobyonna bikolebwa bantu abatalina mwoyo gwagwanga. Hellen seku kamisona wamwoyo ggwagwanga mu offisi ya pulesidenti mwebazza olw’omulimu gwakola mubavubuka abato okubatemkamu omutima ogw’okwagala ennyo eggwanga lyabwe kubanga ffenna tulina okwagala eggwanga lyaffe.era tulina okukimanya nti bwetunaffa abaana baffe bebalina okusigala muyuganda nga tulina okubasomesa nga bukyali okwagala ensi yabwe bwetutakikole abalala bagenda kuyingirawo okuva mumawanga nga americca, nawalala olwo ensi yaffe bagyedizze ekintu eky’obulabe na’abaana baffe tulina okubasomesa nti bwekibeera kyetagisa kufa bakikirize bafe nga bataasa yuganda
Biwandikiddwa Kirunda Faruk omwogezi wa pulezidenti Museveni ne state house

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top