Amawulire

Kkooti e Nakawa esindise abantu 3 mu kkomera e Luzira

Abasajja babiri n’omukazi abaakwatibwa nga kigambibwa nti baali bamenya ezimu ku ku flats ze Bugoloobi okubbamu ebintu, kkooti e Nakawa ebasindise mu kkomera e Luzira.

Bano bagguddwaako  emisango ena okuli  gwokwekobaana okuzza omusango, okusangibwa nga bazza omusango, okugezaako okuzza omusango wamu n’okusaalimbira mu maka g’omuntu.

Amir Ndikumana 40, omutuuze w’e Soya -Bunga e Makindye Kampala ,Twaha Mondo 46 omutuuze w’e Wanyama – Bugembe mu disitulikiti y’e Jinja  ne Vivian Awio 30 omutuuze w’e Mukono basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi Frank Namanya e Nakawa ne basomera emisango egyo ne bagyegaana.

Okusinziira ku ludda oluwaabi olukulembeddwa omuwaabi wa gavumenti Eunice Mbaine kigambibwa nti Ndikumana, Mondo ne Awio nga August 26, 2022 e Bugoloobi flats ku Block 16 B6 mu munisipaali y’e Nakawa mu Kampala baasangibwa n’ebintu ebyobulabe omwali akacupa ka ttiyagaasi ak’ekitongole kya SWAT , ekyuma kya sipaana wamu n’ebyuma ebirala bye baali bagenda okweyambisa okumenya  bayingire mu maka ga Wu Bing Hui.

Abawawaabirwa Nga Beekekwa Kamera Zaffe, Era kigambibwa bagezaako okuzza omusango  nga bamenya n’okuyingira mu maka ga Wu Bing Hui wamu n’okusaalimbiramu nga balina ekigendererwa ky’okubba n’okukuba Yowasi Muzahuzi.

Era kigambibwa beekobaana ne bazza omusango bwe baayingira era ne bagezaako okumenya amaka ga Wu Bing Hui.

Omuwaabi wa gavumenti, Mbaine ategeeza ng’okunoonyereza ku misango gyabwe bwe kutannaba kuggwa n’asaba kkooti eyongereyo okubasomera.

Bwatyo omulamuzi Namanya abasindise ku limanda mu kkomera e Luzira okutuusa nga September 08, 2022.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top
// Infinite Scroll $('.infinite-content').infinitescroll({ navSelector: ".nav-links", nextSelector: ".nav-links a:first", itemSelector: ".infinite-post", loading: { msgText: "Loading more posts...", finishedMsg: "Sorry, no more posts" }, errorCallback: function(){ $(".inf-more-but").css("display", "none") } }); $(window).unbind('.infscr'); $(".inf-more-but").click(function(){ $('.infinite-content').infinitescroll('retrieve'); return false; }); if ($('.nav-links a').length) { $('.inf-more-but').css('display','inline-block'); } else { $('.inf-more-but').css('display','none'); } // The slider being synced must be initialized first $('.post-gallery-bot').flexslider({ animation: "slide", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, itemWidth: 80, itemMargin: 10, asNavFor: '.post-gallery-top' }); $('.post-gallery-top').flexslider({ animation: "fade", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, prevText: "<", nextText: ">", sync: ".post-gallery-bot" }); });