Amawulire

Kkooti esindise wa poliisi eyagajjalira emmundu ku limanda .

Kkooti ya Buganda Road esindise ku limanda e Luzira omuserikale wa poliisi agambibwa okulagajjalira emmundu Ivan Wabwire gye yakozesa okutta manne lenda Omuyindi ku Raja chambers.

Stephen Murombo ali ku ddaala lya Poliisi Constable ng’ akolera ku CPS Kampala, agguddwaako emisango ebiri; ogw’okulagajjalira omulimu gwe n’okulemererwa okukuuma emundu.

Omulamuzi Asuman Muhumuza amusomedde omusango nti nga May12, 2023 ku poliisi ya CPS, ng’ omuntu eyaweebwa omulimu mu gavumenti ogw’okubeera ow poliisi , yalemererwa okugukola obulungi  bw’ataafa ku mmundu ey’ekika kya SMG eyalimu amasasi 120 ekyaviirako Wabwire okugigwikkiriza n’agikozesa okutta Uttam Bhandari.

Nti ku lunaku lwe lumu Murombo  yalemererwa okukuuma emmundu bwe yagitereka mu nnyumba ye, Wabwire naafuna omukisa gw’okukikozesa ng’ate yali tateekeddwa.

Olumusomedde emisango, gyonna agyegaanyi naye tabadde na bamweyimirira, omulamuzi Muhumuza namusindika ku limanda.

Poliisi yavaayo n’etegeeza nga Murombo bwe yagobwa mu poliisi olw’ekikola ekyobulagajavu kye yakola.

Bino bijjidde mu kaseera nga ne Wabwire eyakozesa emumndu eno mu bukyamu  n’atta manne lenda naye ali Luzira ku musango gw’obutemu.

Murombo akomezebwawo mu kkooti nga June 13, 2023 omusango gwe lwe guaatandika okuwulirwa kubanga okunoonyereza kwawedde.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top
// Infinite Scroll $('.infinite-content').infinitescroll({ navSelector: ".nav-links", nextSelector: ".nav-links a:first", itemSelector: ".infinite-post", loading: { msgText: "Loading more posts...", finishedMsg: "Sorry, no more posts" }, errorCallback: function(){ $(".inf-more-but").css("display", "none") } }); $(window).unbind('.infscr'); $(".inf-more-but").click(function(){ $('.infinite-content').infinitescroll('retrieve'); return false; }); if ($('.nav-links a').length) { $('.inf-more-but').css('display','inline-block'); } else { $('.inf-more-but').css('display','none'); } // The slider being synced must be initialized first $('.post-gallery-bot').flexslider({ animation: "slide", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, itemWidth: 80, itemMargin: 10, asNavFor: '.post-gallery-top' }); $('.post-gallery-top').flexslider({ animation: "fade", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, prevText: "<", nextText: ">", sync: ".post-gallery-bot" }); });