Pulezidenti Yoweri Museveni alabudde essiga eddamuzi nga gavumenti bwejja okusigala nga ezimuula ebiragiro bya kkooti singa bibeera bikakanya embeera y’obwenkanya n’obulungi bw’abantu abangi nga byagala okuganyula omuntu omu.
Okulabula kuno Pulezidenti Museveni yakukoledde mu Kampala bw’abadde omugenyi omukulu ku musomo ogutekebwa buli mwaka okujjukira Ssaabalamuzi Benedicto Kiwanuka eyatemulwa mu September 21, 1972.
Museveni agamba nti essiga eddamuzi terisobola kwetegerera kuva ku masiga amalala aga gavumenti era bajja kusigala nga bavaayo okukuuma bannayuganda singa ebiragiro ebibeera biweereddwa bibeera nga si byabwenkanya.
Okusinziira ku Pulezidenti Museveni ennono y’essiga eddamuzi okwetengerera erina okutunulwamu kuba abamu ku balamuzi bagivvoola nga bawa ebiragiro ebikyamu.
“Kati essiga eddamuzi lyetengerera kuva kuki? Tosobola kwetengerera kuva ku bannayuganda. Nze ndowooza kino kyetaaga okutunulwamu, mpozzi nga twogera ku kwetengerera nga bakola obwenkanya,” Museveni bwe yannyonnyodde.
Kino kiddiridde Pulezidenti w’ekibiina ekifuga bannamateeka mu ggwanga, ‘Uganda Law Society’ Bernard Oundo okuvumirira ebitongole bya gavumenti naddala eby’ebyokwerinda okugaana okuteeka ebiragiro bya kkooti mu nkola kyagamba nti kiyingirira enfuga ey’amateeka.
Museveni ku kino yagambye nti kiva ku biragiro bya kkooti obutakwatagana nabulungi bw’abantu wadde oludda lw’ebyobufuzi.
Museveni yawadde eky’okulabirako ky’ abantu abawerako abasengulwa ku ttaka olw’omuntu omu, kino Museveni agamba nti ababaka be mu bitundu (RDC) basobola okuyingiramu nebayimiriza ebiragiro bino.