Amawulire

Makanika w’e Wandegeya afudde kikutuko.

Makanika eyafudde  ekibwatukila ekintu bwe kyamukutte mu kifuba alese aba famire n’emikwano mu kiyongobero.Alaan Ggita 32, abadde makanika w’emmotoka e Wndegeya  ng’abadde abeera ne mwannyina e Mulago ku mawanda road mu minisipaali y’e Kawempe abaamulabyeko ku Lwokutano bagamba  nti teyabadde na buzibu  bwonna ng’ekiro  yasoose kulaba mupiira gwa Man City ne Arsenal.

Ana Nlunga muganda w’omugenzi yagambye nti babadde  babeera  n’omugenzi nga mu kiseera we yafunidde obuzibu  teyabaddewo nga Ggita yamukubidde essimu mu kiro ekyakeesezza ku Lwomukaaga ku ssawa 4:00 n’amutegeezza nti ekintu kimusimbye mu kifuba. Agamba yawalirizidwa okukubira baliraanwa be bamudduukirire era bagenze okutuuka ng’asobodde okuggula oluggi.

Baafunye emmooka ne bamuddusa mu ddwaliro e Mulago ebyembi n’afiira mu kkubo .Yaziikidwa Namulonge ng’alese omwana omu omuwala.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top