Amawulire

Mpuuga yeeyamye okuddamu okukwasa gavumenti  olukalala lw’ababatamanyiddwaako mayitire.

Akulira oludda oluwabula gavumenti mu palamenti, Mathias Mpuuga yeeyamye okuddamu okukwasa gavumenti olukalala lw’ab’ekibiina kya NUP abagambibwa okubeera nga tebamanyiddwaako mayitire.

Mpuuga ng’asinziira mu lukungaana lwa bannamawulire oluvannyuma lw’abooludda oluwabula gavumenti okwekandaga ne bafuluuma palamenti ategeezezza nti si beetegefu kukomawo mu palamenti okutuusa nga gavumenti ebaanukudde ku nsonga ez’okuwamba n’okulinnyirira eddembe ly’obuntu z ebanjulidde palamenti.

Mpuuga ategezeeza nti  balina abantu 18 abatamanyiddwaako mayitire naye gavumenti ebategezeeza nti terina bikwata ku bantu bano ‘nagamba bino bagenda kubiwereeza mu ofiisi ya sipiika .

Abooludda oluwabula gavumenti, eggulo baakomyewo mu palamenti oluvannyuma  lw’okwekandaga ne bafuluuma era Mpuuga asomedde palamenti ekiwandiiko ekikwata ku bantu abagambibwa okubeera nga bawambibwa nga tebamanyiddwako mayitire wamu nabo abali mu makomera nga tebawozesebwa, wabula minisita omubeezi ow’ensonga z’omunda, David Muhoozi asabye ennaku 30 okwanukula okwemulugunya kwa bano kye bawakanyiza ne baddamu okufuluma palamenti.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top