Amawulire

MTN eyerudde emikisa gy’abaana abawala okusobola okweyimirizaawo

MTN eyerudde emikisa gy’abaana abawala okusobola okweyimirizaawo

Bwe tuba nga tusinzidde ku bbula ly’emirimu wano mu Uganda, twetaaga okumenyawo endowooza z’abaawulamu emirimu okusinziira ku kikula ky’abantu ate n’okwagazisa abakyala obutasosola mirimu girowoozebwa nti gy’abaami bokka. MTN n’abo abawagira endowooza bweti bavuddeyo okussa obukugu mu bakyala olwo basobole okweyimirizaawo.

Prossy Nalunkuuma mu kissera kino asoma ku Smart Girls Foundation e Wakiso okufuna ebbaluwa ye mu kukanika emmotoka. Nalunkuuma twamusangirizza ng’anekedde mu Ovuloye eya bbululu ng’akutamye mu bboneti y’emmotoka, akimanyi nti abantu bamwegeka amaaso mu ngeri y’okumwewuunya, olw’omulimu gw’asomerera, naye takifaako wabula okugoberera ekyo kyaluubirira okufuna mpozzi n’okumenyawo endowooza z’abo abagamba nti emirimu nga gino gy’abasajja bokka.

“Newankubadde abawala bangi basosola omulimu gw’okukanika, nasalawo okugusomerera ate n’obwagazi bwengulinamu mpozzi n’okwagala okubeera ow’enjawulo mu bawala abalala nga nkola emirimu egirowoozebwa okuba egy’abasajja bokka. Ekiruubirirwa kyange, njagala kukuguka mu kukanika era nteekewo edduka lyange eritunda sipeeya w’emmotoka,” bwatyo Nalunkuuma bwe yannyonnyodde Ssekanolya.

Nalunkuuma, era nga abawala abalala betwasanze ku ssomero lino, bayagala kutuukiriza ebiruubirirwa byabwe nga bali ku ssomero lino eribangula abaana abawala mu bintu bingi omuli eby’obulamu, eby’enjigiriza saako n’egyo emirimu egibadde gyettaniddwa ennyo abaami nga okubajja, okukanika, okwokya ebyuma n’ebirala.

Mu myaka mingi emabega, MTN ewagidde kino ng’eyita mu Smart Girls Foundation, nga ne mu kiseera kino eyongedde okubazimbira basobole okugaziwa olwo bongere ku muwendo gw’abayizi okutuuka ku bikumi 400 buli mwaka, era nga mu kiseera kino abayizi beeyongedde okuva ku 30 okutuuka ku 90 mu masomo g’okukanika, okubajja, okuwaayalinga amasannyalaze ne mukwokya ebyuma.

Dorcus Muhwezi, naye Maneja mu MTN Uganda, era nga naye yinginiya yagambye nti kizzaamu amaanyi bwebalaba nga abaana abawala bangi batandise okwenyigira mu mirimu gino nebatatuulira kyebaagala.
“Kino kireeta essuubi bwetulaba enteekateeka nga zino eziteeka obukugu mu baana abawala okubayamba okwongeza obukugu bwabwe mu byemikono. Nafunye essanyu lingi okuwulira nti abaana b’obuwala bangi basobodde okutandikawo n’amaduuka gaabwe. Nga MTN, kino kijjayo ekiruubirirwa kyaffe, era tugya kweyongera okuvujjirira enteekateeka bweziti, abakyala nabo basoble okweyimirizaawo.” Bwatyo Dorcus bwe yannyonnyode.

Mungeri y’emu MTN ezze evujjirira ebintu eby’enjawulo era nga wiiki ewedde yawa ebirabo abantu ab’enjawulo abaatiikiridde mu byemizannyo okusobola okwagazisa abaana abalala ab’obuwala okwenyigira mu muzannyo nga gino. Kino kyazinzeeko omwezi gwa MTN omulamba gw’emaze nga ejaganya olunaku lw’abakyala mu nsi yonna, ne bakwasa abawala abaatiikiridde mu by’emizannyo.
Mu bataano abaassukuluma era nga bano balondebwa abantu, baafunye obukadde 5 obw’ensimbi za Uganda ate abalalala 15 ne baweebwa emitwalo 50 buli omu.

Rehema Nanyonga, ono Maneja wa Suncity United Netball team, ng’eno etumbula ebitone by’abaana abataafuna mukisa kugenda mu maaso, era nga basangibwa mu migotteko gya Kampala, yeebazizza MTN olw’okubawa awaadi saako n’okubavujjirira ensimbi nga bagenda mu U.S Open Junior championships mu Atlanta ne Georgia nga babasiima omulimu gwebakola. Bano baaweereddwa obukadde 30 olw’okubasiima okutumbula obukugu bw’abaana abawala nga bayita mu byemizannyo.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top
// Infinite Scroll $('.infinite-content').infinitescroll({ navSelector: ".nav-links", nextSelector: ".nav-links a:first", itemSelector: ".infinite-post", loading: { msgText: "Loading more posts...", finishedMsg: "Sorry, no more posts" }, errorCallback: function(){ $(".inf-more-but").css("display", "none") } }); $(window).unbind('.infscr'); $(".inf-more-but").click(function(){ $('.infinite-content').infinitescroll('retrieve'); return false; }); if ($('.nav-links a').length) { $('.inf-more-but').css('display','inline-block'); } else { $('.inf-more-but').css('display','none'); } // The slider being synced must be initialized first $('.post-gallery-bot').flexslider({ animation: "slide", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, itemWidth: 80, itemMargin: 10, asNavFor: '.post-gallery-top' }); $('.post-gallery-top').flexslider({ animation: "fade", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, prevText: "<", nextText: ">", sync: ".post-gallery-bot" }); });