Amawulire

MTN ezimbidde essomero lya Horizon high school ebibiina 3 e Luweero

Essomero lya Horizon High School mu Disitulikiti Luweero ligonnomoddwako ekizimbe ekipya nga kya bibiina bisatu omuli n’etebe nga kyawemmense obukadde bw’ensimbi za kuno eziweerera ddala obukadde 202 nga bawagirwa MTN Uganda. Essomero lino lisangibwa Bombo Kalule, ku mu Disitulikiti Luweero nga lirina abayizi abakunukkiriza mu 180. Pulojekiti eno yateekebwamu ensimbi aba kkampuni ya MTN Foundation wamu n’ekitongole PEAS nga nakyo kya bwannanyini, ekiyambye ennyo okukutumbula ebyenjigiriza mu masomero agenjawulo okwetooloola Uganda.

Bweyabadde ayogerera ku mukolo gw’okutongoza ekizimbe kino, Bryan Mbasa nga ono Maneja mu kkampuni ya MTN, yagambye lino ddaala ddene lyebatuuseeko mu kigendererwa kyabwe ekyokusobozesa abayizi okusoma obulungi. “Tulina okukkiriza nti ebibiina ebisatu ebizimbiddwa saako okubiteekamu ebikozesebwa, wamu ne ttanka y’amazzi, essomero lijja kusomesa bulungi abayizi, abayizi abapya beeyongere obungi era nga kijja na kukendeeza kukuwaanduka kw’abayizi mu ssomero” bweyagambye. Mbasa agamba nti okusoma kuno okwa siniya kukulu nnyo mu bulamu bw’abayizi. “Okusoma kya siniya kusobozesezza abaana abawala n’abalenzi okuzimba omusingi omulungi, obutafa nga bakyali bato wamu n’okusitula ebyenfuna byabwe” bwatyo Bryan Mbasa bweyategeezezza ngali kumukolo guno, era naagattako nti kya magezi nnyo buli mwana okusoma.

Ekitongole kya UNICEF bwe kyakola okunoonyereza kubaana omwaka oguwedde, kyazuula nti omwana omu ku buli baana kkumi (10) mu Uganda omwaka oguwedde, nga era n’ekitongole kya NPA bwekyalaga nti abaana ebitundu 30 ku buli kikumi, mu mwaka gwa 2021 baawanduka mu masomero olw’ekirwadde kya Covid ekyalumba Uganda.

Steven Kavuma nga ono ye mukulu w’essomero lya PEAS Horizon High School yeebazizza  MTN Uganda olw’okuteeka ensimbi mu kusoma nga kino kyakuleetawo enjawulo mu kusoma kw’abaana. Emyaka mingi emabega MTN nga baliwamu ne PEAS bakoze pulojekiti nnyingi ezifaananako nga eno mu masomero ag’enjawulo okwetooloola eggwanga omuli okuzimba ebibiina n’ebifo by’obuyonjo mu masomero omuli Kichwamba PEAS School mu disitulikiti ya Kabalole, Noble PEAS High School ne Aspire PEAS school mu Ibanda Disitulikiti namalala mangi nga kino kiyambye abaana nkumi na nkumi mu bitundu by’ebugwanjuba. Bano tebakomye okwo, wabula baazimbira Bigodi Secondary School mu Disitulikiti ya Kibale ebibiina n’ennyumba z’abasomesa era n’amasomero ga Pulayimale agawerako omuli Rwengobe Primary School mu Disitulikiti ya Kamwenge.

MTN Uganda era yeetabye mu kuteekawo laabu ya kompyuta eziwera 42 mu matendekero agawerako saako amatendekero g’emikono mukaaga omuli Amelo Technical Insitute eriri mu Adjuman, St. Simon Peter’s Vocational Training Centre mu Disitulikiti ya Hoima ne St. Daniel Comboni Polytechnic mu Disitulikiti ya Moroto n’amalala.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top
// Infinite Scroll $('.infinite-content').infinitescroll({ navSelector: ".nav-links", nextSelector: ".nav-links a:first", itemSelector: ".infinite-post", loading: { msgText: "Loading more posts...", finishedMsg: "Sorry, no more posts" }, errorCallback: function(){ $(".inf-more-but").css("display", "none") } }); $(window).unbind('.infscr'); $(".inf-more-but").click(function(){ $('.infinite-content').infinitescroll('retrieve'); return false; }); if ($('.nav-links a').length) { $('.inf-more-but').css('display','inline-block'); } else { $('.inf-more-but').css('display','none'); } // The slider being synced must be initialized first $('.post-gallery-bot').flexslider({ animation: "slide", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, itemWidth: 80, itemMargin: 10, asNavFor: '.post-gallery-top' }); $('.post-gallery-top').flexslider({ animation: "fade", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, prevText: "<", nextText: ">", sync: ".post-gallery-bot" }); });