Omubiri gwa munnamawulire Edward Muhumuza eyafiiridde ku luguudo lwa Entebe Expressway guziikiddwa e Kyegegwa ku kyalo Kanyinya.
Ng’omubiri gw’omugenzi tegunnatuuka Kyegegwa gwasooseddwa mu kkanisa ya Kampala Central SDA Church e Makerere, oluvannyuma aba Rhino Funeral Services e Nalukolongo abakozi ku nteekateeka z’okuziika ne bagussa mu mmotoka ekika kya Benz Limozin ne gutwalibwa ku kyalo Kanyinya gy’aziikiddwa leero ku Mmande.
Mu kusabira omwoyo gw’omugenzi omusumba Paul Mugabi akubirizza abakkiriza okwekuumira ku Mukama kubanga ku nsi tulinako ekiseera kitono, ebbanga eddene tuli baakulimala na mutonzi waffe nga tumaze okufa.
Yagambye nti omugenzi abadde musajja ayagala ennyo Katonda olw’ebikolwa ebirungi by’abadde akola okuli okuwaayo mu kuzimba ekkanisa saako n’okuweereza Mukama era w’afiiridde abadde mmemba mu kkanisa ya Kampala Central SDA church esangibwa e Makerere.
Abantu abenjawulo omugenzi bamwogeddeko ng’omuntu abadde alina omukwano ogwekimemete eri balala ne bategeeza nti abadde musanyufu.
Omugenzi yakolerako ku Urban TV etwalibwa Vision Group gye yakolera ebbanga eddene nga omusasi oluvannyuma n’adda ku NTV mu 2020.
Okuziika kwetabiddwamu aba Nation Media etwala NTV saako abakozi ba Vision Group omugenzi gye yasooka okukolera ku Urban TV , abakungu mu ggye lya UPDF, abakulembeze ku mitendera egyenjawulo saako n’aboluganda lw’omugenzi.
Muhumuza yafiiridde mu kabenje ku luguudo lwa Entebe Expressway ku Lwomukaaga ku makya bwe yabadde ava ku kitebe kya NTV mu Kampla ng’ayolekera ku University e Nkumba gy’abadde asomera.