Amawulire

Muhumuza munnamawulire wa NTV aziikiddwa wakati mu biwoobe.

Omubiri gwa munnamawulire Edward Muhumuza eyafiiridde ku luguudo lwa Entebe Expressway guziikiddwa e Kyegegwa ku kyalo Kanyinya.

Ng’omubiri gw’omugenzi tegunnatuuka Kyegegwa gwasooseddwa mu kkanisa ya Kampala Central SDA  Church e Makerere, oluvannyuma aba Rhino Funeral Services e Nalukolongo abakozi ku nteekateeka z’okuziika ne bagussa mu mmotoka ekika kya Benz Limozin ne gutwalibwa ku kyalo  Kanyinya gy’aziikiddwa leero ku Mmande.

Mu kusabira omwoyo gw’omugenzi omusumba Paul Mugabi akubirizza abakkiriza okwekuumira ku Mukama kubanga ku nsi tulinako ekiseera kitono, ebbanga eddene tuli baakulimala na mutonzi waffe nga tumaze okufa.

Yagambye nti   omugenzi abadde  musajja ayagala ennyo Katonda olw’ebikolwa ebirungi by’abadde akola okuli okuwaayo mu kuzimba  ekkanisa saako  n’okuweereza Mukama era w’afiiridde abadde  mmemba mu kkanisa  ya Kampala Central SDA  church  esangibwa e Makerere.

Abantu abenjawulo omugenzi bamwogeddeko ng’omuntu abadde alina omukwano ogwekimemete eri balala ne bategeeza nti abadde musanyufu.

Omugenzi yakolerako  ku Urban TV etwalibwa Vision Group  gye yakolera ebbanga eddene nga omusasi  oluvannyuma n’adda  ku NTV mu 2020.

Okuziika  kwetabiddwamu aba Nation Media etwala  NTV saako abakozi ba Vision Group omugenzi gye yasooka okukolera ku Urban TV , abakungu mu  ggye  lya UPDF,  abakulembeze ku mitendera egyenjawulo saako n’aboluganda lw’omugenzi.

Muhumuza yafiiridde mu kabenje  ku luguudo lwa Entebe Expressway ku Lwomukaaga ku makya bwe yabadde  ava ku kitebe  kya NTV mu Kampla  ng’ayolekera ku University e Nkumba gy’abadde asomera.

 

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top
// Infinite Scroll $('.infinite-content').infinitescroll({ navSelector: ".nav-links", nextSelector: ".nav-links a:first", itemSelector: ".infinite-post", loading: { msgText: "Loading more posts...", finishedMsg: "Sorry, no more posts" }, errorCallback: function(){ $(".inf-more-but").css("display", "none") } }); $(window).unbind('.infscr'); $(".inf-more-but").click(function(){ $('.infinite-content').infinitescroll('retrieve'); return false; }); if ($('.nav-links a').length) { $('.inf-more-but').css('display','inline-block'); } else { $('.inf-more-but').css('display','none'); } // The slider being synced must be initialized first $('.post-gallery-bot').flexslider({ animation: "slide", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, itemWidth: 80, itemMargin: 10, asNavFor: '.post-gallery-top' }); $('.post-gallery-top').flexslider({ animation: "fade", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, prevText: "<", nextText: ">", sync: ".post-gallery-bot" }); });