Amawulire

Nambooze yeetondedde obulabirizi bw’e Mukono.

Omubaka wa munisipaali y’e Mukono Betty Nambooze Bakireke asabye obulabirizi bw’e Mukono okwongera okuggumiza enkolagana wakati waayo n’abakulembeze bonna ab’e Mukono.

Ono yabadde asisinkanye Vicar wa lutikko eno Edward Muyomba gye yasinzidde okwetondera obulabirizi bw’e Mukono olw’embeera ey’okusika omuguwa eyaliwo gye buvuddeko.

 

Nambooze yali alumiriza eyali Omulabirizi ekiseera ekyo, Rt. Rev. James William Ssebaggala okwekobaana n’eyali mmeeya wa munisipaali y’e Mukono ekiseera ekyo George Fred Kagimu okukozesa olukujjukujju okutunda ettaka ly’amasomero ga Bishops okuli erya Central, East ne West n’ekigendererwa eky’okugasaanyaawo.

Embeera eno ejjukirwa okuwaawaaza Abakristaayo mu Bulabirizi buno amatu okumala ekiseera era nga yawaliriza bannamateeka n’abamu ku bakulembeze mu Bulabirizi bw’e Mukono okukaayuukira omubaka Nambooze mu lukung’aana lwa bannamawulire, olw’okwogera kalebule ku mulabirizi n’obulabirizi bwonna okutwaliza awamu era ne bamusaba okumenyawo bye yali ayogedde n’okwetonda oba si kyo, bamukube mu mbuga za mateeka.

“Neetonda ku mbera eyaliwo emabega nti saawagira kiteeso kya Bishop eky’okugatta amasomero ago, nali njagala gasigalewo nga gakyatambulira ku musingi kwe gabadde gatambulira okuviira ddala emabega mu nteekateeka esobozesa abazadde okusasula ebisale by’essomero.

Twategeezebwako nti ekkanisa yali tegenda kuzza buggya liizi y’ettaka okutudde ekitebe kya munisipaali olw’ensonga eno ng’omukulembeze ne nva mu mbeera wabula nzikirizza nti enjogera n’entegeera ye yatabula buli kimu, era nsaba Vicar wa Lutikko okuntuusa eri abadde omulabirizi Ssebaggala okulaba ng’ embeera wakati waffe erongooka.”Nambooze bwe yagambye.

Wano we yasinzidde n’asaba obulabirizi buno okulowooza ku ky’okuzimbayo essomero eliri ku musingi gw’amasomero ag’amaanyi agamanyikiddwa mu ggwanga wabula n’agabazadde abatalina nnyo busobozi mu bya nsimbi nago gasigalewo.

Nambooze era yasabye omulabirizi omuggya okutandikira ku nsonga z’ettaka  ery’e Ntaawo erizze lireetawo okugugulana n’ekaayana wakati w’abatuuze n’ekkanisa ezikyagaanye okuggwa ne guno gaka.

Mmeeya w’ekibuga Mukono naye yasinzidde mu lukiiko luno n’asiima Ssebbaggala olw’emirimu emirungi egirabwako gy’alese akoze mu Bulabirizi buno egibufudde obw’ekitiibwa era obw’enjawulo ku bulabirizi obulala.

 

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top