Amawulire

Nampeera ow’akatambi bimwonoonekedde.

Omuwala Christine Nampeera eyalabikidde mu katambi n’omusajja nga beegandagira mu ttooyi bimwonoonekedde, minisita akwasisa empisa n’obuntubulamu, Rose Lilly Akello bw’alagidde poliisi emugguleko omusango ne munne bwe baayolesezza amaddu n’obuseegu.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Patrick Onyango yagambye nti poliisi yafunye ekiragiro okuva ewa minisita okuggulawo omusango ku Nampeera ne munne
bwe baalabikidde mu katambi nga beegadangira mu kaabuyonjo y’ebbaala e Kamwokya.

Yagambye nti oluvannyuma lw’okufuna ekiragiro okuva ewa minisita, poliisi ya Kira Road yalagiddwa okuggulawo fayiro etandike okunoonyereza mu bwangu omuli n’okuyita Nampeera ne munne bakole sitetimenti.

Ye omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga yagambye nti okwegadandira mu kifo ky’olukale nga kaabuyonjo, musango era poliisi eyise abajulizi bagiyambeko okugaziya mu kunoonyereza kwayo.

Yategeezezza nti ensonga ya Nampeera bagikutte n’amaanyi kuba bazudde nti kaabuyonjo mwe yabadde ya lukale era baataataaganyizza abalala abaagala okugikozesa mu butuufu.

“Njagala mukimanye nti okwegadangira mu kaabuyonjo ey’olukale musango era abantu
bonna abaataataaganyiziddwa nga bano bali mu kaabuyonjo n’eyakutte akatambi bajulizi,” Enanga bwe yategeezezza.

Akatambi kaasaasaanidde emikutu egy’enjawulo nga kalaga Nampeera nga yeegaddanga n’omusajja amanyiddwa nga Barasha nga bali mu kaabuyonjo y’ebbaala.

Nampeera y’omu ku bawala ababalagavu abateeka ebifaananyi byawe ku mitimbagano okuli Facebook ne Tik Tok.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top