ebyamasanyu

Nnaabagereka abangudde abasaakaate mu kibuga kya New Hampshire

Nnaabagereka Sylvia Nagginda abangudde abasaakaate mu kibuga kya New Hampshire mu ssaza lye Massachusetts mu Amerika nga enteekateeka eno eya Ekisakaate Diaspora  yayindidde mu kkanisa ya  Singing Hills Christian Camp.

Mu nteekateeka  eno Abasaakaate baasengekeddwa mu mitendera ena (4), era gino gyabuddwa  mu mannya g’ebizimbe ebikulu mu bwa Kabaka okuli Twekobe, Bulange, Butikkiro ne Masengere.

Ku lunaku olwasoose, abaana baasomeseddwa emisomo ebiri okwabadde; Okusalawo okw’omugaso mu bulamu bw’omuntu (Decision Making), ate n’okuyiga okulanya awamu n’ebyafaayo ebikwata ku Buganda , ennono awamu n’obuwangwa.

Ekisaakaate Diaspora eky’omwaka guno kyetabiddwamu abaana 93, era nga kijja kuggalwawo Maama Nnaabagereka ku Lwokutano lwa wiiki eno nga 12 Muwakanya, 2022.

Omukolo gwetabiddwako Omumbejja Katrina Ssangalyambogo, Omwami wa Kabaka atwala ekitundu kino Oweek. Kato Kajubi awamu n’abalala.

Abakuliddemu enteekateeka eno nga bakuliddwa omusumba Henry Ssuuna beebazizza Nnaabagereka olw’omukisa guno.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top
// Infinite Scroll $('.infinite-content').infinitescroll({ navSelector: ".nav-links", nextSelector: ".nav-links a:first", itemSelector: ".infinite-post", loading: { msgText: "Loading more posts...", finishedMsg: "Sorry, no more posts" }, errorCallback: function(){ $(".inf-more-but").css("display", "none") } }); $(window).unbind('.infscr'); $(".inf-more-but").click(function(){ $('.infinite-content').infinitescroll('retrieve'); return false; }); if ($('.nav-links a').length) { $('.inf-more-but').css('display','inline-block'); } else { $('.inf-more-but').css('display','none'); } // The slider being synced must be initialized first $('.post-gallery-bot').flexslider({ animation: "slide", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, itemWidth: 80, itemMargin: 10, asNavFor: '.post-gallery-top' }); $('.post-gallery-top').flexslider({ animation: "fade", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, prevText: "<", nextText: ">", sync: ".post-gallery-bot" }); });